Ekibonerezo kya Everton kirinze Chelsea ne Man City
Nov 20, 2023
Chelsea bagirumiriza nti ku mulembe gwa Roman Abramovich we yabeerera nnannyiniyo, enfunda nnyingi yakolanga by’eyagala mu kugula abazannyi. Looya omugundiivu mu by’omupiira e Bungereza, Stefan Borson alabudde nti wadde nda Man City ne Chelsea ttiimu nnene, zoolekedde akaseera akazibu.

NewVision Reporter
@NewVision
OLUVANNYUMA lwa Everton okusalwako obubonero 10 olw’okutyoboola amateeka agafuga ensaasaanya ya ssente mu kugula abazannyi, abakungu ba Chelsea ne Man City nabo emitima gibatujja.
Ttiimu zombi ziri mu kunoonyerezebwako olw’ebigambibwa nti zaayiwa omusimbi ogw’ekiralu era singa kinaazuulibwa nti kyali kituufu, zoolekedde ekibonerezo ekikakali. Wakati wa 2009 ne 2018, Man City egambibwa okuba nga yasukka ku ssente abakulira mu Bungereza ze bakkiriza.
Amateeka mu Bungereza tegakkiriza ttiimu yonna kusaasaanya ssente zisukka bukadde bwa pawundi 105 kyokka Man City ne Chelsea enfunda eziwera zibadde zisaasaanya ssente ezisukkawo.
Pochettino (ku kkono) n'omuwuwuttanyi Enzo Fernandes.
Chelsea bagirumiriza nti ku mulembe gwa Roman Abramovich we yabeerera nnannyiniyo, enfunda nnyingi yakolanga by’eyagala mu kugula abazannyi. Looya omugundiivu mu by’omupiira e Bungereza, Stefan Borson alabudde nti wadde nda Man City ne Chelsea ttiimu nnene, zoolekedde akaseera akazibu.
“Kituufu okusala ku Everton obubonero 10, kinene nnyo kyokka tugendera ku mazima, Chelsea ne Man City nazo zeekaabire,” Looya ono eyawolerezaako Man City bwe yategeezezza. Everton eyabadde mu kifo ky’e 14, bwe yasaliddwaako obubonero n’ekkirira mu ky’e 19 mu Premier.
No Comment