Eyali ssita wa Liverpool atabukidde abagagga ku bya Klopp
Jan 28, 2024
Erique agamba nti wateekwa okubaawo ensong eyawalirizza Klopp okutegeeza bw’agenda okuva mu Liverpool mu kaseera nga sizoni eri wakati.

NewVision Reporter
@NewVision
EYALIKO omuzannyi wa Liverpool, Jose Enrique agambye nti bannannyini Liverpool balina eby’okuddamu bingi ku nsonga za Jurgen Klopp.
Erique agamba nti wateekwa okubaawo ensong eyawalirizza Klopp okutegeeza bw’agenda okuva mu Liverpool mu kaseera nga sizoni eri wakati. Kkampuni ya FSG erimu Omumerika John W.
Henry ne banne y’ekulira Liverpool kyokka Enrique agamba nti bano be baavuddeko Omugirimaani ono okugenda kuba enneeyisa yaabwe tewa maanyi. Klopp agamba nti waakwabulira ttiimu eno ku nkomerero ya sizoni kuba awulira omubiri mukoowu.
Related Articles
No Comment