Balagidde Ten Hag atunde bassita

Jan 28, 2024

ManU wansi wa Sir Jim Ratcliffe eri mu nteekateeka za kwezza buggya eddemu evuganye ku bikopo nga bwe gwali ku mulembe gwa Sir Alex Ferguson.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAKUNGU ba ManU batadde omutendesi wa ttiimu eyo Erik ten Hag ku nninga atunde abazannyi abatayamba ttiimu kimusobozesa okufuna ssente ezigula abalungi.

ManU wansi wa Sir Jim Ratcliffe eri mu nteekateeka za kwezza buggya eddemu evuganye ku bikopo nga bwe gwali ku mulembe gwa Sir Alex Ferguson.

Baabaliridde obukadde bwa pawundi 250 nti ze zijja okuva mu bazannyi abagenda okutundibwa. Ku bano okuliko abazannyi ba ttiimu enkulu okuli; Jadon Sancho, Antony, Anthony Martial ne Casemiro.

Mu ngeri y’emu, ne akademi, waliyo abazannyi abasuubirwa okutundibwa mu katale ka June. ManU yaamunaana mu Premier sizoni eno ku bubonero 32.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});