Arteta agumizza ku buvune bwa Tomiyasu
Feb 12, 2024
Arteta yabadde ayogera ku Takehiro Tomiyasu ataazannye gwa West Ham kyokka ng’ali ku ndeboolebo za kukomawo.

NewVision Reporter
@NewVision
OLUVANNYUMA lwa Arsenal okutimpula West Ham ggoolo 6-0, omutendesi wa Arsenal, Mikel Arteta agambye nti musanyufu olw’abazannyi be abamu abassuuse obuvune.
Arteta yabadde ayogera ku Takehiro Tomiyasu ataazannye gwa West Ham kyokka ng’ali ku ndeboolebo za kukomawo.
Tomiyasu yali ku ttiimu y’eggwanga lye eya Japan mu mpaka za Asian Cup kyokka okuva lwe yakomawo, abadde tannaddamu kuzannyira Arsenal.
Arteta agamba nti omuzannyi ono yabaddemu n’obukosefu obutonotono kyokka asuubirwa okutereera amangu ddala. Kijjidde mu kiseera nga Oleksandr Zinchenko bwe bavuganya ku nnamba ssatu ne Tomiyasu naye mulwadde.
Ku gwa West Ham, Arteta yatandisizza Jakub Kiwior mu nnamba ssatu era singa Tomiyasu assuuka, waakuzannya ogwa Burnley ku Lwomukaaga.
No Comment