Nakaayi akoze likodi n'awa Uganda essuubi ly'omudaali

Ono okwetaba mu misinde gino yeetegekera Olympics era y'omu ku Bannayuganda be balinamu essuubi. Emizannyo gya Olympics gitandika Lwakutaano mu kibuga Paris ekya Bufalansa.

Nakaayi ng'attunka n'abaddusi abalala mu Olympics.
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision
#Olympics #Halima Nakaayi #Paris #London Diamond League #Uganda

MUNNAYUGANDA omuddusi w’embiro ennyimpi, Halima Nakaayi ataddewo likodi y’obudde obutono bw’akyasinze okukozesa mu mu mmita 800 ekimuwadde essuubi nga yeetegekera emizannyo gya Olympics.

Ku wiikendi, Nakaayi yeetabye mu mbiro za London Diamond League n’addukira eddakiika 1:57.26.

Ono okwetaba mu misinde gino yeetegekera Olympics era y'omu ku Bannayuganda be balinamu essuubi. Emizannyo gya Olympics gitandika Lwakutaano mu kibuga Paris ekya Bufalansa.

Obudde obutono Nakaayi bwe yali yasemba okuddukira bwali (1:57.62) omwaka gumu emabega. Emisinde gwe muzannyo Uganda gw’etunuulidde okufunamu emidaali mu Olympics ng'abaddusi 21 be bagenda okukiikirira eggwanga.