Ebyemizannyo

Ttiimu y'abatasussa myaka 20 ekamuka ntuuyo mu kutendekebwa e Njeru

TTIIMU y’eggwanga ey’abakazi abatasussa myaka 20 ey’omupiira (Queen Cranes) eyongedde ggiya mu kutendekebwa nga yeetegekera okuttunka ne Zambia mu z’okusunsulamu amawanga aganaazannya ez’ensi yonna (2026 FIFA U20 Women’s World Cup

Ttiimu y'abatasussa myaka 20 ekamuka ntuuyo mu kutendekebwa e Njeru
By: Gerald Kikulwe, Journalists @New Vision

TTIIMU y’eggwanga ey’abakazi abatasussa myaka 20 ey’omupiira (Queen Cranes) eyongedde ggiya mu kutendekebwa nga yeetegekera okuttunka ne Zambia mu z’okusunsulamu amawanga aganaazannya ez’ensi yonna (2026 FIFA U20 Women’s World Cup).

 

Abazannyi 32 be bali mu nkambi ku kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru nga batuuyana bwe zikala buli lunaku okulaba ng’omutindo gwabwe gulinnya n’okubeera fiiti.

Abamu ku bazannyi mu kutendekebwa

Abamu ku bazannyi mu kutendekebwa

Zambia baakugizannya nga February 7, ku kisaawe kya FUFA Kadiba Stadium, ekisangibwa e Rubaga (Kampala) mu nsiike esooka ate bajja kudding’ana wiiki eddako wakati wa February 8-14, mu kibuga Lusaka ekya Zambia.

 

Guno gugenda kubeera mupiira gwa mutendera ogw’omulundi ogwokusatu mu z’okusunsulamu zino. Uganda okutuukawo, yawanduddemu Namibia ku mugatte gwa ggoolo (5-0) ate Zambia yawanduddemu Burundi.

 

Ayitawo wakati wa Uganda ne Zambia ku mutendera ogwokusatu, waakuttunka ne ttiimu eneeyitawo wakati wa Ghana ne South Africa ku mutendera ogunaasembayo era ogusalawo ani yeesogga World Cup y’abatasussa mya 20 omwaka guno.

 

Eza 2026 FIFA U-20 Women's World Cup, zaakuzanyibwa wakati wa September 5 – 27 mu kibuga Mistrzostwa ekya Poland. Zaakwetabwamu ttiimu 24 okuva mu ligy

Tags:
Njeru
Queen cranes