Ebyemizannyo

USSSA yeetegekera mizannyo gy'amassomero ga siniya ez'omwaka guno

USSSA yeetegekera mizannyo gy'amassomero ga siniya ez'omwaka guno

Justus Mugisha ngannyonnyola
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

USSSA yeetegera mizannyo gyamassomero ga siniya ezomwaka guno, emizannyo gyeyongeddeko obungi.
Ekibiina ekiddukanya emizannyo gy'amassomero ga siniya mu ggwanga ekya Uganda Secondary Schools Sports Association (USSSA) kitongozza enteekateeka zaakyo ez'emizannyo gy'omwaka guno egyawano ne bweru w'eggwanga. 
President wa USSSA Justus Mugisha yatongozza enteekateeka zino mu lukungaana lwa bannamawulire olubadde ku wofiisi zaabwe mu kampala.

Bwabadde azitongoza Mugisha ayogedde ne kumizannyo emipya egyongeddwa ku kalenda ya USSSA. Gino kuliko Cricket, Baseball, Softball & Baseball 5, Golf, Kabaddi, Kho-Kho, ne Pickleball. 
Bwabadde ayogerako eri abaamawulire Mugisha ayogedde ku bituukiddwako omuli okuggulawo okuwandiisa amassomero agagenda okwetaba mu mpaka zomwaka guno nga bayita ku mutimbagano kiyite online registration. 
Empaka zomwaka guno zaakutandika n'empaka za Elite Secondary School Championships ezitandika ku nkomerero yomwezi guno ku ssomero lya Janan Secondary School e Bombo.

Amasomero 8 agaakola obulungi mu buli muzannyo bebagenda okwetaba mu mpaka ezigenda okubeera e bombo nga amasomero gaakuvuganya mu mizannyo egyenjawulo musanvu. Gino kuliko omupiira, ensero, volleyball, handball, ensero eya 3x3, okubaka ne rugby nga gyonna gyakubaamu okuvuganya mu bawala nabalenzi.
Mugisha alangiridde nga empaka zomwaka guno ezaamasomero ga siniya eza east Africa bwezigenda okubeera mu kibuga Morogoro ekya Tanzania mu mwezi ogwomunana. 
Omwaka guno era ekibiina kya USSSA kyakutegeka okulonda ku bifo ebyenjawulo oluvannyuma lwekisanja kyabakulembeze abaliko okuba nga kiggwako ku nkomerero yomwaka guno. Okulonda kwakutegekebwa ku district, zooni negwanga lyonna okutwaliza awamu era nga ne Mugisha asuubirwa okudddamu okwesimbawo. 
Yadde nga enteekateeka zonna zanjuddwa Mugisha alaze okusoomozebwa kwebakyalina mu nsimbi ezibaweebwa okuva mu gavumenti. Ono ayongeddeko nti omwaka guno emizannyo gyebagenda okwetabamu gyeyongedde nga kyandibadde kirungi nebongeza kunsimbi zeebawa okusobola okukwasizaako amasomero agaba gagenda okukiikirira Uganda mu mpaka zensi yonna.