Mupiira U14;
Kitende 1-0 Madiina Islamic
Buddo 1-0 Lugazi SS
Bukedea 1-1 London College
Kitende 2-0 Bulo Parents
Madiina Islamic 1-1 Hopeful Future
Kitende 1-0 Hopeful Future
God's Way 2-0 St. Francis SS
Buddo 1-0 London College
Amus 3-0 Samson Kalibbala SS
Bukedea 1-0 Lugazi SS
Madina Islamic 1-0 Bulo Parents
Bannantameggwa b'omupiira gw'amasomero ku mutendera gw'abali wansi w'emyaka
15 aba St. Marys Kitende balaze nti ekikopo baagala okukyeddiza bwe bawangudde emipiira gyonna egy'ebibinja e Gulu nga tebateebeddwaamu. Kitende yakulembedde ekibinja A n'obubonero mwenda ne yeesogga 'quarter'. Yaddiriddwa Madina Islamic ku bubonero 4. Ekya B, Bukedea Comprehensive yakikulembedde n'obubonero 7 ate Buddo SS n'eddako ku 6.
Amus College nayo yeesozze 'quarter' bwe yakulembedde ekya C ng'okufaananako Kitende yawangudde emipiira gyonna 3. God's Way nayo yayiseewo nga emu ku
ttiimu 2 ezaasinze mu baakutte ekyokusatu.
Abayizi 10,180 okuva mu masomero agasoba mu 500 be be bagyetabyemu ku mitendera
3; U15, U17 ne U20. Battunka mu mupiira, okubaka, basketball, volleyball, emisinde, n'emirala wabula emipya kuliko; khokho, pickball, kabaddi n'emirala. Gyagguddwaawo pulezidenti wa Uganda Secondary Schools Sports Association (USSSA), Justus Mugisha ku Lwokutaano