Ebyemizannyo

Bannantameggwa ba U-15 aba St Mary's Kitende batandise na maanyi ez'omwaka guno

Bannantameggwa ba U-15 aba St Mary's Kitende batandise na maanyi ez'omwaka guno 

Abasambi nga battunka
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Egyazanyiddwa
Mupiira U14

Buddo 1-0 Lugazi SS
Bukedea 1-1 London college
Kitende 2-0 Bulo Parents
Madina Islamic 1-1 Hopeful Future

Mu Kubaka
Buddo 29-15 Trinity Catholic
Kitende 36-5 st. Benedict voc
Kaddugala SS 19-15 Ibun Baaz
St. Noa Girls 36-9 Kibatsi

Mu volleyball
St. Kaggwa 2-1 Mbogo mixed
Amus college 2-0 St. Marys Lacor
Hilton High Sch 2-0 Muntuyera High
Masaka SS 2-0 Namilyango college
Ntare school 2-0 Wampewo Ntake
Hilton High sch 2-0 Iganga SS

Mu Nsero 
Buddo 16- 1 Holy Cross
Seroma 14-2 Kyebambe Girls 
St. Michael 17-4 Otino Waa
Mbogo mixed 35-25 Manjasi HS

Bannantameggwa b'omwaka oguwedde mu mupiira ogwebigere ogwabali wansi wemyaka 15 aba St. Marys Kitende batandise na maanyi ez'omwaka guno eziyindira mu kibuga Gulu.  

Baakubye Madina Islamic mu gwasoseewo 1-0 ate mu gwokubiri nebakuba Bulo parents 2-0 nebeenywereza kuntikko yekibinja ekisooka nobubonero mukaaga. Olwaleero baakufundikira ebibinja nga battunka ne Hopeful Future esembye mu kibinja nakabonero kamu.
Mu kibinja ekyokubiri Buddo yafunye obuwanguzi bwayo obusooka mu mipiira ebiri bweyakubye Lugazi SS 1-0 oluvannyuma lwokukubwa Bukedea comprehensive mu gwaguddewo.

Abasambi nga battunka mu gwa U-15

Abasambi nga battunka mu gwa U-15


Buddo eri mu kifo kyakusatu nobubonero busatu nga okuyitawo erina okuwangula London college okwesoga oluzannya lwa quarter final.
Mu muzannyo gwokubaka bannantameggwa bomwaka oguwedde aba Buddo ne St Marys Kitende baatandise namaanyi nga bombi baawangudde emizannyo gyabwe ena egyomuddiringanwa. Mu muzannyo gwensero owa 3x3 St. Noa Girls, Buddo, Kitende ne Amus bonna baawangudde enzannya zaabwe ezebibinja nga kati balinze oluzannya oluddako olwokusirisizaawo. Empaka zamassomero ga siniya eza National ball games II zagyiddwako akawuuwo ku lwokutaano lwa wiiki ewedde ku ssomero lya Sacred Heart SS.
Abayizi 10,180 okuva mu massomero agasoba mu 500 bebeetabye mu zomwaka guno nga bavuganya mu mitendera esatu okuli ogwabali wansi wemyaka 15, 17 nemyaka 20.
Emizannyo 23 gyegirimu okuvuganya omuli omupiira, okubaka, ensero, volleyball, emisinde nemirala nga omwaka guno baatongozza emizannyo emirala etaano okuli khokho, pickeball, kabaddi nemirala.

Abasambi nga battunka

Abasambi nga battunka


Mu kuggulawo ezomwaka guno president wa USSSA Justus Mugisha yalangiridde nga uganda bweyataddeyo okusaba mu kibiina ekiddukanya emizannyo gyamassomero mu nsi yonna ekya ISF okutegeka empaka zomupiira gwamassomero ezensi yonna mu 2030. Mugisha yategezezza nti gavumenti ezimbye ebisaawe ebimala ate nga bituukagana nomutindo gwensi yonna nga kyekiseera okukozesa okukisa gubo okutegeka empaka eziri ku mutendera gwensi yonna.
Tags: