Ebyemizannyo

Peneti zeefuzeegy'abaana e Wakiso

PENETI zeefuze empaka z'abatasussa myaka 10 mu masomero g'omu Town Council y'e Namayumba mu disitulikiti y'e Wakiso, emipiira 5 ku 8 egyazannyiddwa okuva ku'quarter' bwe ggyaggweeredde 'mu bunnya'. 

Peneti zeefuzeegy'abaana e Wakiso
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Quarter';
ACE Buloba 0-1 Ahuuli

Jollyland 0 (2) Haibah 0 (3)
Isamu 0 (3) Bananywa 0 (2)
Yurie 0 (3) Standard Soccer 0 (2)
Semi;
Ahuu 0 (2) Haibah 0 (3)
Isamu 0 (3) Yurie 0 (2)
Ekyokusatu;
Ahuu 2-0 Yurie
Fayinolo;
Haibah 1-0 Isamu
PENETI zeefuze empaka z'abatasussa myaka 10 mu masomero g'omu Town Council y'e Namayumba mu disitulikiti y'e Wakiso, emipiira 5 ku 8 egyazannyiddwa okuva ku
'quarter' bwe ggyaggweeredde 'mu bunnya'.  Mu mpaka zino ezaabaddewo ku Lwokutaano nga zaagendereddwaamu kuyigga abaana abalina ttalanta z'omupiira, ttiimu 15 zaayawuddwaamu ebibinja 3,abaakulembedde mu buli kimu n'abalala 2 abaasinze mu kyokusatu okuzannya 'quarter'. Peneti zaacamudde nnyo abalabi nga ne fayinolo wakati
wa Haibah Islamic ne Isamu Foundation katono eggweere mu 'bunnya' singa si Haibah eyateebye mu ddakiika 3 ezaayongeddwaamu ng'e 90 kiweddeko.Akulira ebyemizannyo mu
Wakiso, Brian Ssenyonga n'aba Mirembe Children's Village be baakwasizza abawanguzi
emidaali, satifikeeti n'ekikopo. Ssenyonga yasiimye omutindo ogwayoleseddwa mu mpaka n'asaba bakooci basse nnyo essira ku kuteeba okusinga okuzibira  kuba abantu basinga kunyumirwa mipiira girimu ggoolo. Yagasseeko nti empaka bwe iti waakulwana okulaba ngam zibuna Ggombolola zonna ez'omu Wakiso kiyambe okuzuula
ebitone by'abaana n'okubizimba. Yeebazizza Mirembe Children's Village, ekulirwa Nelson Kalyango Kasenene okuvaayo n'ekirooto ky'okusitula ebitone by'abaana. Omuwanguzi yaweereddwa ekikopo, emidaali gya zaabu ne ssente 1,100,000/-, owookubiri yafunye emitwalo 55 n'emidaali gya feeza ate owookusatu emitwalo 30 n'emidaali egy'ekikomo. Empaka zaabaddeko ne Patrick Semakula, taata wa ssita wa Cranes, Travis Mutyaba

Tags: