OMUTENDESI Morley Byekwaso alidde. Aweereddwa omulimu gwa Express FC agizze ku ntikko. Abadde talina mulimu okuva lwe yava mu SC Villa ku nkomerero ya sizoni ya 2024/25.
Morley eyazannyirako Express, Villa, KCCA, ATRACO ey’e Rwanda ne Cranes, yasemba kutendeka Cranes ya CHAN n’ekubwa Senegal ggoolo 1-0 ku ‘quarter’ mu nsiike eyali e Namboole. Express ebadde terina mutendesi oluvannyuma lwa Jimmy Kintu n’omumyuka we Godfrey Magoba okugyabulira nebagenda mu URA.
Akulira emirimu mu Express, Becky Cynthia Nakimera yategeezezza nti enteeseganya ne Byekwaso zaawedde ng’ekibulako tekiyinza kubalemesa.
Yagasseeko nti abatendesi bangi ababadde baagala omulimu guno wabula Morley yabasukkulumyeko okusinziira ku biruubirirwa bya ttiimu. Morley yatendekako KCCA, Villa, Victoria University, UPDF, U-20 n’endala.
Express eyasemba okuwangula liigi mu sizoni ya 2020/21, eggulo yaviiriddwaako omuzannyi, Elvis Ssekajugo eyeegasse ku URA FC ku ndagaano ya myaka 2. Sizoni ewedde, Express yamalidde mu kifo kya 10 ku ttiimu 16.