Ebyemizannyo

Steven Mukwala training anjongeddemu amaanyi

STEVEN Mukwala omuwuwuttanyi wa Cranes ne Al-Nasser SC (Al-Nasr Benghazi) ezannyira mu liigi y’ababinywera eya Libya okutendekebwa akwongeddemu ebirungo bwaleese omutendesi w’ebikonde Clement Yiga okumwongeramu ebirungo.

STEVEN Mukwala ng'akola Training
By: Ismail Mulangwa, Journalist @New Vision

STEVEN Mukwala omuwuwuttanyi wa Cranes ne Al-Nasser SC (Al-Nasr Benghazi) ezannyira mu liigi y’ababinywera eya Libya okutendekebwa akwongeddemu ebirungo bwaleese omutendesi w’ebikonde Clement Yiga okumwongeramu ebirungo.

STEVEN Mukwala ng'ali mu kutendebwa okwakaasammeeme

STEVEN Mukwala ng'ali mu kutendebwa okwakaasammeeme

Mukwala mu kifo ky’okuwummula wabula ye yasazeewo okutandikirawo okupika nga yetegekera sizoni empya n’obukodyo obw’enjawulo omuli okumwongeramu sitamina mu kisaawe naddala ye nga omuteebi kuba yetaaga gaasi okulaba ng’ateeba obutimba bw’abasajja.

Alien Skin ng'ali n'omutendensi wa Mukwala

Alien Skin ng'ali n'omutendensi wa Mukwala

Yiga omutendesi we agamba nti, Mukwala akwata mangu ate amanyi ky’ayagala kuba tapowa mukutendekebwa ng’abazannyi abalala olw’omululu gwa ggoolo z’ayagala okuteeba era kino kigenda ku muyamba okw’ongera omutindo mupiira gw’azannya.

“Ntendese abantu bangi wabula Mukwala ye wanjawulo nnyo kuba ekintu ky’akola akyagala nnyo saako n’okusaayo omwooyo n’omutima kuba ebikonde sibyabanafu.” Yiga bwe yategezezza.

Hom 8

Hom 8

Yayongeddeko nti omupiira si kitone kyokka wabula mulimu okubaamu empisa saako n’okuba n’obwongo obwoogi ekintu ekisanyu ennyo
Tags: