PULEZIDENTI w'ekibiina ekiddukanya emizannyo gy'amassomero ga siniya ekya USSSA Justus Mugisha bamwongedde amayinja mu mizannyo gy'amassomero egyensi yonna oluvannyuma lwokulondebwa ku lukiiko olufuzi olwekibiia ekiddukanya emizannyo gyamassomero mu nsi yonna olwa International School Sport Federation (ISF).
Mugisha yakakasiddwa ku lukiiko luno olutuulako abantu 24 ku lunaku olwokusatu mu lukungaana lwa bonna olutuula buli mwaka olwabadde mu kibuga Belgrade ekya Serbia. Waakuweereza ku lukiiko luno okumala emyaka ena okutuusa 2030.

Justus Mugisha ng'ayogera
Yadde nga teyasobodde kubeerayo mu buntu oluvanyuma lwokumibwa visa nga byekuusa ku kirwadde kya ebola, Mugisha yalondeddwa bamemmba bangi era nga yomu ku baasizne okuyitawo nomuwendo gwobululu omungi.
Obuvuunanyizibwa obwamuweereddwa ssi bwebusoose ku lukiiko lya ISF nga ono yaabadde akulira akakiiko akebyekikugu akomupiira okuviira ddala mu 2018.
Mugisha obuwanguzi bweyatuseeko yabutadde ku ngeri Uganda gyezza ekolamu mu mizannyo gyamassomero mu nsi yonna nga kumpi buli mwaka ekiika.
Yategezezza nti obuvunaanyizibwa obumuweereddwa bwakuyamba ugana okukulakulanya emizannyo gyamassomero olwobumanyirivu bwagenda okujja mu mawanga agawerako gaagenda okutambulangamu nga akola emirimu gye.

Justus Mugisha ng'ayogera ku kifo ekimuweereddwa
Kamisona webyemizannyo mu ministry yebyenjigiriza nebyemizannyo Rev. Canon Duncan Mugumya, yayanirizza ekifo ekyaweereddwa Mugisha nategeeza nga ekiraga engeri Uganda gyesajjakudde mu bukulembeze bwebyemizannyo mu nsi yonna.
Bino webijidde nga Mugisha yeteekateeka kwesimbawo ku ntebe ya president wa USSSA ekisanja ekyokubiri oluvannyuma lwekisanja ekisooka okuggwako omwezi ogujja era nga yomu ku basuubirwa okuddamu okwesimbawo.
Mugisha abadde mu buweereza bwemizannyo gyamassomero emyaka egisoba mu 20 nga yatandikira ku buwanika bwa USSSA mu 2001 okutuusa 2022.
Ono era yaabadde president wekibiina ekiddukanya emizannyo gyamassomero ga siniya ekya FEASSA okuviira ddala mu 2003 saako okutuula ku lukiiko oluddukanya emizannyo gyamassomero mu Africa olwa Africa School Sport Federation Executive Committee okuva 2023.
Nga ogyeeko emizannyo gyamassomero Mugisha era mukadde kano yemumyuka wa president wa FUFA asooka wansi wobukulemebeze bwa Moses Magogo