Ebyemizannyo

Uganda ewangudde emidaali gya zzaabu mu mpaka z'okukuba obusaale

UGANDA yawangudde emidaali gya zzaabu ebiri mu mpaka zokukuba obusaale eza  African Archery Championships ez'omulundi ogwe 15 ezaabadde ziyindira mu kibuga Oran ekya Algeria.

Bannayuganda abeetabye mu mpaka
By: Julius Kafuluma, Journalist @New Vision

UGANDA yawangudde emidaali gya zzaabu ebiri mu mpaka zokukuba obusaale eza  African Archery Championships ez'omulundi ogwe 15 ezaabadde ziyindira mu kibuga Oran ekya Algeria.
Precious Allan Asiimwe yeyasoose okuwangulira Uganda omudaali ogwa zaabu ogwasookedde ddala mu byafaayo mu mpaka zabaliko obulemu eza para recurve eza ssekinoomu.

Omu ku beetabye mu mpaka

Omu ku beetabye mu mpaka


Oluvannyuma Asiimwe yeegasse ne munnayuganda omulala Bashir Mutyaba ne bwangula empaka z'ababiri ezaabaliko obulemu okutwala omudaali ogwa zaabu omulala.
Asiimwe nga gwegwabadde omulundi gwe ogwasookedde ddala mu byafaayo ku lukalu lwa Africa yawangudde munnansi wa Algeria Izri Abdelkader ali mu kifo kya 29 mu nsi yonna obugoba 6-5.
Oluzannya olw'akamalirizo lwabadde lwa lawundi mukaaga wabula batuuse ku lawundi eyokutaano nga bakyasibaganye ekyaleetedde okwongerayo lawundi ezisalawo omuwanguzi.

Eyangudde omudaali

Eyangudde omudaali


Nga tanatuuka ku luzannya olwakamalirizo Asiimwe yasoose kuwangula munnansi wa Mauritius Bookun Ravindra obugoba 7-3. Oluvanyuma yeesasulizza ku munnansi wa A eyabadde amaze okuggyamu munnayuganda omulala  Bashir Mutyaba obugoba 6-0 mu luzannya olwokusunsula.
Mutyaba yamalidde mu kifo kyakuna oluvannyuma lwakasaale keyabadde akozesa okwononeka nga ali wakati mu mpaka. 
Munnayuganda omulala Shiloh Kamukama Ayebare yamalidde mu kifo kya 13 mu mutendera gwa Recurve ogwabali wansi wemyaka 18. 
Empaka zomulundi guno zetwabiddwamu amawanga 13 nga abategesi aba Algeria baaziwangudde oluvannyuma lwokukunganya emidaali 25 okwabadde egya zaabu 12, silver 8 ne bronze etaano.
Namibia yakutte kyakubiri nemidaali Mwenda, Egypt kyakusatu nemidaali ena ate Tunisia yamalidde mu kyakuna nemidaali ena. Uganda yakutte ekifo kyakutaano nemidaali ebiri egya zaabu. 

Amyuka president womuzannyo gwa Archery mu Uganda Sula Blick eyakulembeddemu ekibinja yatenderezza bannayuganda olwokukola ebyafaayo mu muzannyo guno. “obuwanguzi buno kabonero kankukunala akalaga nt twongedde okukula mu muzannyo gwa archery  era nkakasa tuli beetegefu okuvuganya ku mutendera gwensi yonna” Blick bweyagambye.
Kati bano batunuulidde okwetaba mu mpaka eziwerako omwaka ogujja ezokusunsula abalyeetaba mu mpaka za paralympics ne olympics alibeera mu ggwanga lya USA mu 2028

Tags: