Ebyemizannyo

Enteekateeka z'empaka z'amaato ga Kabaka ez'akamalirizo ziri mu ggiya

Enteekateeka z’empaka z’amaato ga Kabaka 2026 eza Buganda Royal Regatta ez’akamalirizo ziri mu ggiya. Abategesi balambudde ekifo wezinaayindira okulaba oba nga kituukana n’omutindo, n’okuteekawo ebirabo eby’enjawulo ebinawangulwa abawagizi. 

Empaka z'amaato ezoluzannya oluddirira olwakamalirizo ezaali e Nakiwogo
By: Vivien Nakitende, Journalist @New Vision

Enteekateeka z’empaka z’amaato ga Kabaka 2026 eza Buganda Royal Regatta ez’akamalirizo ziri mu ggiya. Abategesi balambudde ekifo wezinaayindira okulaba oba nga kituukana n’omutindo, n’okuteekawo ebirabo eby’enjawulo ebinawangulwa abawagizi. 

empaka z'amaato ga Kabaka ezoluzannya oluddirira olwakamalirizo ezaaliwo mu June

empaka z'amaato ga Kabaka ezoluzannya oluddirira olwakamalirizo ezaaliwo mu June

Ssentebe w’olukiiko lw’empaka zino olutegesi  yinginiya Ben Immanuel Misagga ne ttiimu ye, ku mmande bakedde kugenda ku bizinga by’e Bunjakko mu ssaza ly’e Mawokota awagenda okubeera empaka z'amaato nga August 28, 2026 omwezi guno, okulaba embeera n’ekifo bwebifaanana.

Eng. Misagga (wakati mu ssaati enjeru) n'olukiiko lwe olutegesi olwempaka z'amaato nga bali ku bizinga bye Bunjakko awagenda okubeera ez'akamalirizo

Eng. Misagga (wakati mu ssaati enjeru) n'olukiiko lwe olutegesi olwempaka z'amaato nga bali ku bizinga bye Bunjakko awagenda okubeera ez'akamalirizo

Misagga agambye nti, okusinziira ku bwebalambudde ekifo kiri mu mbeera nnungi era beesunze lunaku kutuuka, naasaba abantu ba Beene okubaayo mu bungi kubanga kwolwo basuubira namunswa mwenyini ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okwetaba ku mukolo, okuggalawo empaka z’omwaka guno.
Agamba nti, omulundi guno empaka bazitaddemu ebinonnoggo, wagenda kubaayo okuwangula  ebirabo ebigenda okuba nga bikwekeddwa mu musenyu eri abawagizi 100 abanasooka okutuuka, abanazuula obukonge obunaaba buziikiddwa mu musenyu bajja kubuukawo n’ebirabo ebinabeera ku bukonge obwo omuli;  pikipiki, amasimu n’ebirala bingi.

abamu ku bali ku lukiiko olutegesi nga bakulaga obulungi n'obuyonjo bw'omusenyu omugenda okukwekebwa obukonge kwebatadde ebirabo abawagizi bye banaawangula

abamu ku bali ku lukiiko olutegesi nga bakulaga obulungi n'obuyonjo bw'omusenyu omugenda okukwekebwa obukonge kwebatadde ebirabo abawagizi bye banaawangula

Akuliddemu oludda lweby’okwerinda Collins Ssemanda, akakasizza abanaabeera ku mpaka zino nti  ebyokwerinda biri ggululu tewali buzibu bwonna.
Misagga agamba nti, emikolo gyakutandika ku ssaawa bbiri ez’okumakya ng’okuyingira kwa 10,000/, olwo okunoonya ebirabo kutandike, oluvannyuma empaka z’amaato ziggyibweko akawuuwo.

Eng Ben Immanuel Misagga ssentebe wempaka zamaato ga Kabaka eza Buagnda Royal Regatta

Eng Ben Immanuel Misagga ssentebe wempaka zamaato ga Kabaka eza Buagnda Royal Regatta

Abawanguzi b’empaka z’amaato bakuwangula ebirabo omuli ssente n’ebirala, wajja kubaayo nokusanyusibwa abayimbi ne bannakatemba  ab’enjawulo, olunaku lwonna lwakujjula amasanyu.
“Nsaba abantu ba Beene okweyiwa e Bunjakko mu bungi babugirize omutanda ng’aggalawo empaka z’amaato ga Kabaka ez’omwaka guno 2026.” Misagga bwabakoowodde.
Amasaza 8 okuli; Bugerere, Mawogola, Kabula, Buvuma, Kooki, Busujju, Kyadondo ne Ssesse zeezaayitawo okuvuganya mu z’akamalirizo.
Tags:
Amaato
Buganda Royal Regatta
Empaka z'amaato