Ebyemizannyo

Omutendesi agumizza okuwandula eya Mauritania mu gwa CAF;

BANNAYUGANDA ababadde n’okutya nti ttiimu yaabwe eya Vipers eyolekedde okuwanduka mu mpaka za CAF Champions,  omutendesi wa ttiimu eno, Denis Lavagne abagumizza. Kiddiridde Vipers okulemagana (1-1) ne Nouadhibou eya Mauritania mu gw’oluzannya olusooka mu mpaka za CAF Champions League e Kitende ku Lwomukaaga

By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Vipers 1-1 Nouadhibou
BANNAYUGANDA ababadde n’okutya nti ttiimu yaabwe eya Vipers eyolekedde okuwanduka mu mpaka za CAF Champions,  omutendesi wa ttiimu eno, Denis Lavagne abagumizza. Kiddiridde Vipers okulemagana (1-1) ne Nouadhibou eya Mauritania mu gw’oluzannya olusooka mu mpaka za CAF Champions League e Kitende ku Lwomukaaga.

Kati Vipers okuyitawo yeetaaga kugenda Mauritania n’efuna obuwanguzi bwonna. Lavagne enzaalwa y’e Bufalansa, agamba nti wadde ttiimu eno yabalemye okuwangulira e Kitende, omupiira gukyali muggule nnyo era basobola okugikubira omwayo ne beeyongerayo ku luzannya olusembayo olubatuusa mu bibinja.
“Twabadde tulina okuguwangula kuba twafunye ggoolo nga bukyali kyokka twalemeddwa okugikuuma ne bagiyunga ate ne tulemwa okwangerako. Wabula nkyali mugumu nti tulina obusobozi obuyityawo kuba abazannyi bange balungi,” Lavagne bwe yategeezezza ng’omupiira guwedde. Baakudding’ana ku wiikendi eno e Mauritania
okulabako agenda ku luzannya oluddako.
Eyabadde kapiteeni wa Vipers, Hilary Mukundane olwa kapiteeni omujjuvu, Milton Karisa obutatandika BukeFddfifie rimbi Mmande September 7, 2026 yagambye nti buli lukya puleesa yeeyongera mu nkambi yaabwe era balina okulinnyisa omutindo. VIPERS ERI WAZIBU Empaka ennene zonna ebyafaayo bya ttiimu ebirungi biyamba nnyo.
Bw’otunuulira Vipers ne Nouadhibou, bannyinimu (Nouadhibou) basinga ku Vipers ebyafaayo ebirungi mu mpaka zino.
Zombi zaakagenda mu bibinja by’empaka zino omulundi gumu kyokka Nouadhibou ebirinamu wiini bwe yawangulayo omupiira ng’ekubye Pyramids eya Misiri ggoolo 2-0 n’okulemagana nayo (2-2) ssaako okulemagana ne TP Mazembe mu kampeyini ya 2023/24.
Vipers bwe yagenda mu bibinja yafunayo akabonero kamu kokka bwe yalemagana ne Simba e Kitende. Ekirala, Nouadhibou eyingira omupiira guno ng’eri ku ffoomu nnungi oluvannyuma lw’okumala sizoni bbiri nga tekubwa waka.
Ayitawo ku bombi waakuttunka n’anaayitawo wakati wa San Pedro eya Ivory Coast ne Rivers United eya Nigeria okwesogga ebibinja

Tags: