Ssande mu gy'Amasaza 13, 10:00
Gomba- Buddu, Kabulasoke
Busujju-Butambala, Kakindu
Mawogola-Kyaggwe, Mawogola
Bugerere-Kyaddondo, Ntenjeru
GOMBA ne Buddu ze zimu ku ttiimu z’Amasaza ezitandika empaka nga mu buli ngeri zeebalira ku kikopo.
Ttiimu zino zirina ebyafaayo ebirungi era bwe bagikuwa mu kibinja, omanyirawo nti erina enkizo ekivaamu. Gomba yaakatuuka ku fayinolo emirundi 10, ewanguddeko 5 era y'ekyasinze ebikopo. Buddu etuuseeyo emirundi 7 n’ewangulako 3.
Olw’ebyafaayo ebirungi bwe zitatuuka ku fayinolo omwaka guba mufu. Ku mulundi guno, zeekwatidde ku ‘quarter’. Buddu yakulembera ekibinja Bulange ku bubonero 19 ate Gomba yakutte kyakubiri mu Masengere nayo ku bubonero 19. Abagoberera ensiike eno, bagigeraageranya ku El Clásico ebeera wakati wa Barcelona ne Real Madrid.
GOMBA BAGITULISA NNYO
Emipiira 5, Gomba gy’ezannyidde omwayo omwaka guno, tewali agikubiddeyo. Erina wiini 3 n’okulemagana 2. Kyokka ekizibu ky’erina okunogera eddagala kya kugiteebwa nnyo. Mu mipiira gino, gumu gwokka gw’esimattuse obutagiteeba. Wabula abawagira Buddu bagumu nti okuzannyira ku bugenyi ke kazannyo kaabwe kuba tebakubiddwa mupiira gwonna sizoni eno. Bawangudde 2 n’okulemagana 3.
BULI OMU YEMANYI
Bw’oasanga Munnabuddu n’omuwa obudde ayinza okukumatiza ebirungi n’okwesiima okuli e Buddu era tebamanyiiyo kitundu kirala kirungi era ky’amaanyi nga Buddu. Bwe batuuka ku ttiimu yaabwe, bagiwagiza ‘vayibu’ wamma ddala naawe omulabi n’okwatibwa ensaalwa.
Ku bugenyi, Buddu esomba oluseregende lwa mmotoka era bw’oba teweekakasa, ekisaawe kyo bandikiwamba. Mu ngeri y’emu, Gomba nayo mu bawagizi eri ku mwanjo abakwatirira ekisaawe. Abawagizi ba Gomba balina ennyonta y’ekikopo kye baakoma okuwangula mu 2021 nga bakuba Buddu ku fayinolo (3-1). Sizoni ewedde, bombi baali mu kibinja kye kimu ne kibalema okuvaamu.
BULI OMU AGWEWULIRA
Mu nsisinkano zaabwe 5, buli omu alinako wiini 2 n’okulemagana 1. Kino kifuula ensiike yaabwe ey’omutawaana. Buddu yakuba Gomba ku fayinolo ya 2016 ate ku fayinolo ya 2021, Gomba nayo n’ekuba Buddu (3-1).
Mu 2023 beesanga ku ‘semi’. Gyombi Gomba yagiwangula eka (2-1) ne ku bugenyi (1-0). Mu 2025, baali mu kibinja Bulange nga wano Buddu yawangulira e Kitovu (1-0) ate bwe yagenda e Kabulassoke ne balemagana (1-1).
ABASITUDDE GOMBA
Sizoni ebiri ezisembyeyo, Gombatevudde mu kibinja kyokka okuva Jane Namatovu (ssentebe) ne Resty Mbatidde (maneja) lwe baakutte mu ttiimu eno, baakomezaawo ekitiibwa ky’essaza lino.
Mbatidde agamba nti okuba omukazi tekitegeeza butasobola bukulembeze era bagumu nti Gomba eri ku kikopo. Buddu ne Gomba mupiira gwa mbirannye nnyo naye tetugutidde kuba tuli waka ate tubalinako enkizo wadde nga tugiwa ekitiibwa,” Mbatidde bwe yagumizza.
EBIWANUUZIBWA
Guwanuuzibwa okubaamu ebitwalibwa nga eddogo. Biyiting’ana nnyo nti mu mipiira gino ttiimu ezimu zikozesa eddogo. Mu 2023 mu nsiike ya Gomba ne Buddu eyali e Kabulassoke, eyali kapiteeni wa Buddu, Ayman Twaha Toure aliko ebintu bye yaggya mu kisaawe era oluvannyuma lw’eddakiika ntono n’abimba ejjovu ate bwe baali bamutwala mu ddwaaliro n’adda engulu. Kino kyasattiza abawagizi ne bawanuuza nti lyali ddogo