Ebyemizannyo

Aba Kawempe bakyawaga

OKUWANGULA CECAFA CAF Women Champions League, omutendesi Ayub Khalifa n'omuzannyi we Agnes Nabukenya okuyamba Kawempe Muslim okuwangula ekikopo kino kubasudde mu bintu.

Aba Kawempe bakyawaga
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OKUWANGULA CECAFA CAF Women Champions League, omutendesi Ayub Khalifa n'omuzannyi we Agnes Nabukenya okuyamba Kawempe Muslim okuwangula ekikopo kino kubasudde mu bintu.
Baaweereddwa engule ya Fortebet Real Stars ku mukolo ogwabadde ku Nanjing Hotel e Kololo. Engule

zino zakusiima bannabyamiznnyo abakoze obulungi mu buli mwezi nga bano baalidde za mwezi guwedde.
Khalifa yaweereddwa ya Fortebet Life Time Achievers Award eweebwa bannabyamizannyo abagikoleredde ennyo. Khalifa afuuse omutendesi asoose okutuusa kiraabu ya Uganda okuwangula empaka zino mu mupiira gw’abakazi ate nga teyakubiddwaamu.
“Nneebaaza abategesi olw’engule eno, mbadde sikirabangako mu myaka 25 gya mmaze mu mupiira gw’abakazi. Mbakakasa nti ebikopo nkyabiwangula nnyo kuba tugenda kukuba ttiimu za Afrika zituwulire,” Khalifa bwe yategeezezza.
Nabukenya eyamezze Richard Basangwa owa NEC ne Saidi Mayanja owa KCCA ku ngule y’omupiira yagambye nti; “Obuwanguzi mbuwaayo eri ttiimu yaffe kuba omupiira tuguzannyira wamu.
Mu basketball, Nyembo Fataki Frankc (Nam Blazers) ne Matina Anyango (UCU Lady Canons) be baasinze.

Tags: