Ebyemizannyo

Hippos eddidde Sudan ku semi

OMUTENDESI wa ttiimu y’eggwanga ey’abali wansi w’emyaka 20 (Hippos), Laryea Kingston agambye nti wadde Sudan ekaluba, bagenda kugikuba leero bagende mu AFCON.

Kingston
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Leero mu gw’abato
Sudan - Uganda

OMUTENDESI wa ttiimu y’eggwanga ey’abali wansi w’emyaka 20 (Hippos), Laryea Kingston agambye nti wadde Sudan ekaluba, bagenda kugikuba leero bagende mu AFCON.
Kingston, enzaalwa y’e Ghana, agamba nti Sudan yabasumbuye nnyo mu kibinja era ggoolo emu (1-0) gye baagikubye ku Lwomukaaga yavudde wala nti kyokka bagyetegekedde nnyo leero kuba ensobi zaayo baazirabye.
Battunkira mu kibuga Dar es Salaam ekya Tanzania ng’ayitawo agenda butereevu mu AFCON. Mu kibinja, Uganda yawangudde emipiira gyombi ate Sudan n’ewangula Djibouti yokka n’eyitawo nga ttiimu eyasinze okukola obulungi ku baamalidde mu kyokubiri.
“Abazannyi bange bategeera bulungi omugaso gw’okukuba Sudan kuba gwe gututwala mu AFCON,” bwe yakkaatirizza.
Uganda yeesigamye nnyo ku Amour Munogera, Elvis Opakrwoth ne Arafat Nkoola (Vipers), Isma Magala ali mu Masaka Sunshine, Okello Richard (owa BUL), Simon Wanyama (Bukedea Comprehensive) ne Hakim Wandera (NEC).
Mu 2021, Hippos eyali etendekebwa Morley Byekwaso yatuuka ku fayinolo ya AFCON n’ekubwa Ghana (2-0).

Tags: