Ebyemizannyo

Mourinho ne Bellingham bataamidde ddiifiri

JOSE Mouriho ne Jude Bellingham aba Real Madrid balangidde ddiifi ri Ortiz Arias eyabalamudde nga bakubwa Atletico Madrid (2-1) ku Ssande okubeera ow'ekibogwe.

OYAGALA KUNKUBA?" Ddiifi ri Ortiz (ku ddyo) bw'afaanana okubuuza Mourinho. Mu katono waggulu ye Bellingham.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

JOSE Mouriho ne Jude Bellingham aba Real Madrid balangidde ddiifi ri Ortiz Arias eyabalamudde nga bakubwa Atletico Madrid (2-1) ku Ssande okubeera ow'ekibogwe.
Mourinho yagambye nti, "Nategese ttiimu yange ng'esobolera ddala bulungi okuwangula omupiira singa si ddiifi ri ow'ekibogwe. Yagaanyi okugaba kkaadi emmyuufu 2 ez'enkukunala kyokka n'agaba ebuusibwabuusibwa!" Yagasseeko nti, "Sirina kya kuzza

okuggyako okukulisaayo abazannyi bange n'okuyozaayoza akakiiko ka baddiifi ri okutuwa atalina wadde obukugu bw'emipiira eminene."
Ggoolo za Atletico zazze luvannyuma lwa Real kusigaza bazannyi 10 ng'omuzibizi Dean Huijsen afunye kaadi emmyuufu mu ddakiika eya 50. Nga guwedde, Bellingham yawuliddwa ng'amokkolera ddiifi ri agagambo. Mu mipiira 7, Barcelona tennasuulayo
kabonero, Atletico esudde 5 ate Real 6.

Tags: