EYALI omutendesi wa Man City wakati December 2009 ne May 2013, Roberto Mancini avuddeyo ku misango gy'okumenya amateeka agafuga ensaasaanya mu Premier.
Emisango gino baagizza wakati wa 2009 ne 2018. Mancini, agambibwa nti yali afuna omusaala ogusinga gwe baali balaga mu bitabo. Yagambye nti ye yali mutendesi nga tamanyi ttiimu bw'eddukanyaamu bizinensi zaayo.