Ebyemizannyo

Bongole akutte mu Express

Ab’ebyokwerinda nga baliwamu n’abavunaanyizibwa ku kulondoola ensimbi za Sacco ez’emyooga egy’enjawulo mu munisipaali y’e Mukono bakoze ekikwekweto ekigendereddwaamu okufuuza bonna abagambibwa okudduka awamu n’okubulankanya ensimbi zino ekiviiriddeko enteekateeka eno okudobonkana n’okufiiriza abalala.

Bongole
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Anthony Bongole yeewangulidde obutendesi obw'ekiseera mu Express oluvannyuma lwa Morley Byekwaso okukwatibwa ku nkoona.
Bongole, abadde omumyuka owookubiri owa Morley,  yatuukiddwaako oluvannyuma lw'omumyuka asooka, Edward Kaziba, okuzira omulimu ng'agamba nti abeera nga ayeekedde mukama we (Morley).

Express yatendekeddwa eggulo e Nakivubo nga Bongole ye yagibadde mu mitambo.
Yaakwabika ne UPPC nga December 3 mu liigi ya babinywera.
Express yasoose kutuukirira mutendesi wa St. Mary’s Kitende, Hassan Zungu n’agyepena. Ono yakuziddwa kati ali ne ku Vipers

Tags: