Ebyemizannyo

Bategese emisinde ku nnyumba y'Omulabirizi

OBULABIRIZI bwa Busoga butegese emisinde mubunabyalo (marathon) okusonderamu ssente z'okumaliriza ennyumba y'omulabirizi ne pulojekiti endala z'okwekulaakulanya.

Omulabirizi wa Busoga, Rt. Rev. Polof. Grace Lubaale (wakati) n'akakiiko akategesi nga balambula enguudo abaddusi mwe banaayita.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OBULABIRIZI bwa Busoga butegese emisinde mubunabyalo (marathon) okusonderamu ssente z'okumaliriza ennyumba y'omulabirizi ne pulojekiti endala z'okwekulaakulanya.
Emisinde gyakubaawo ku Lwomukaaga nga December 5 okuva ku Lutikko e Bugembe ku ssaawa 12:30 ez'enkya nga baakudduka kiromita emu, 5 ne 10.

Omulabirizi wa Busoga, Rt. Rev. Polof. Grace Lubaale, yagambye nti emijoozi eginaddukirwamu gya 30,000/- ne 40,000/-.

Tags: