Ebyemizannyo

Pochettino ayombaMaresca

MAURICIO Pochettino, omutendesi wa ManU omuggya avudde mu mbeera ne yeebuuza akakiiko akatwala baddiifiri ba Premier gye kaggya abantu be kateeka ku VAR.

Pochetino
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MAURICIO Pochettino, omutendesi wa ManU omuggya avudde mu mbeera ne yeebuuza akakiiko akatwala baddiifiri ba Premier gye kaggya abantu be kateeka ku VAR.
Okutabuka bw'ati, kyaddiridde akakiiko okuvaayo ne kasazaamu kaadi emmyuufu ddiifiri Sam Barrott gye yawadde omuzibizi Leny Yoro ku Ssande nga Liverpool ebakuba ggoolo 4-0.

Yoro baamugoba ku kisaawe ng'omupiira gwakatambulako eddakiika 8 oluvannyuma lw'okuzannyisa ettima ku Aleksander Isak.
Pochettino agamba nti, "Kino buli omu yali akiraba nga kiri mu giraasi nti Isak yali tasobola kusanga mupiira kuba gwali gugenze wala era nga kyali kyangu ggoolokipa Senne Lammens okugukwata nga Isak tannagutuukako."
"Embeera y'okukola ensobi ate ne muvaayo oluvannyuma okulaga nti yali nsobi teyamba kuba obeera watuusizza dda obuvune ku mitima gy'abantu, Premier ya maanyi eyeetaaga abantu abalina obusobozi okukola ekintu," Pochettino bwe yagambye.
Eggulo, ManU yazannye Sporting mu Champions League ate ku Lwomukaaga yaakukyaza Brentford mu mupiira gwa Pochettino ogusooka ku Old Trafford.

Tags: