GYE buvuddeko, Palamenti yasaba minisita w’Ebyemizannyo, Peter Ogwang agiwe lipooti ku Uganda w'etuuse mu kwetegekera okukyaza empaka z'omupiira eza Afrika (AFCON PAMOJA 2027), z’egenda okutegekera awamu ne Kenya kw'ossa Tanzania wakati wa June 16 ne July 17, 2027. Kyokka wiiki eno, pulezidenti wa CAF, Dr. Patrice Motsepe yakakasizza nti PAMOJA AFCON ejja kubeerayo. Ng’ebula emyezi 7 AFCON 2027 ezannyibwe, FRED KISEKKA azze n'ebibuuzo 10 ebiri mu bantu ku mpaka zino;
1. DDALA AFCON ENEEBEERAYO?
Pulezidenti wa CAF, yazzeemu okukkaatiriza nti amawanga ga East Africa (Uganda, Kenya ne Tanzania) gajja kutegeka PAMOJA 2027 kyokka era bangi bakyabuusabuusa. Kivudde ku kasoobo ku nguudo, ebisaawe n'ebyetaagisa ebirala okuzitegeka.
2. ANI AKULIRA AKAKIIKO AKATEGESI?
Nga May 17, 2024, minisita w'Ebyenjigiriza n'Emizannyo, Maama Janet Museveni yalangirira akakiiko akanaakuliramu okutegeka AFCON 2027 mu Uganda Local Organizing Committe, LOC). Ye yali ssentebe waako ng’amyukibwa minisita Ogwang ne pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo. Kaakano, minisita John Chrizestom Muyingo y’atuliddemu Maama Janet. Abantu beebuuza muntu ki akulira AFCON?
3. AFCON ENEEBA YA BBUGUMU?
Uganda lwe yalondebwa okutegeka olukuhhaana lwa CHOGM mu 2007 ne NAM Sumit (Non-Aligned Movement) mu 2024, ebbugumu lyali ddene ng'ekyabulayo n'omwaka mulamba. AFCON ebuzaayo emyezi 7, wandisuubidde ebipande ebinene ebigiranga mu buli kabuga ka Uganda, obulango ku leediyo, ttivvi n'empapula z'amawulire, emijoozi n'ebyamagaguzi ebyenjawulo, kyokka mpaawo kirabwa.
4. KABONERO KI AKA AFCON?
Empaka oba emizannyo egy'amaanyi nga Olympics, Commonwealth oba World Cup biba n'akabonero oba ekintu ekiggyayo ekifaananyi oba 'ffeesi' yaabyo. Emabegako, Uganda yalagako capati ya 'Rolex' nga ekyobulambuzi kyayo. Erina ggomesi oba ekkanzu naye kabonero ki akalanga AFCON 2027 mu Uganda?
5. ENGUUDO ZINAGGWA?
Lipoota CAF gye yakola mu April w’omwaka guno, yalaga nti oluguudo lwa Kampala-Hoima, olwabalirirwa okuwemmenta obuwumbi 309, lwakakolwako ebitundu 30 ku 100. Omwezi oguwedde, minisita w’Ebyenguudo, Fred Byamukama yategeeza nti batuuse ku bitundu 40 ku buli 100. Enguudo; Busunju-Hoima, Kyankwanzi- Hoima, Kinnawattaka-Namboole, Lwamata-Bukwiri, Mparo-Masindi, olwetooloola Hoima City Stadium, tezinnabaako bwe zaabadde, ziriko enzikiza ekiro. Bangi beebuuza nti teziggwe kikereezi?
6. EKISAAWE KYA KABALEGA KITUUSE WA?
Nga September 27, 2026, ennyonyi ya Uganda Airlines eyalimu abakungu ba FIFA ne CAF, yakola ekyafaayo nga eyasooka okugwa ku Kabalega International Airport. CAF yalagira ekifo abasabaaze we batuukira kigaziyizibwe okuva ku bantu100 kiweze 1,000. Kino kizimbwa kkampuni ya Misiri eya SAMCO naye ekyebuuzibwa nti kinaggwa ddi kiggulwewo?
7. AMALWALIRO GAMALA?
Mu bajeti y'omwaka 2026/2027, Gavumenti yataddemu obuwumbi 91 okuddaabiriza Hoima Referral Hospital, Masindi General Hospital ne Busereku Health Centre III. Kyava ku lipooti ya CAF eyalaga embeera embi amalwaliro agasuubirwa okukozesebwa mu AFCON, mwe gali. Ddala amalwaliro gano ganaddaabirizibwa mu budde?
8. WOOTEERI ZINAAZIMBWA DDI?
Lipooti y’ekitongole ky'Ebyobulambuzi eya 2025 eraga nti ng'oggyeeko Kampala, ekibuga Hoima tekiriimu woteeri eri ku ddaala lya nsi yonna (5-Star). Wooteeri entono eziri e Hoima zaakatandika okugaziwa n’okweddaabiriza nga ne ku mipiira 2 Cranes gy'ezannyiddeyo abantu bangi basuze mu buloogi na mayumba ga bantu. Mu AFCON ejjiramu n'abakungu banaasuzibwa wa?
9. NAMBOOLE ANAGGWA?
Ekisaawe ky'e Namboole, Bannayuganda kye bamanyidde okulabiramu Cranes,b kisuubirwa kuggwa mu January. Waliwo okwebuuza nti byonna CAF bye yasaba binaabaamu ng'abakungu bakomyewo okukirambula?
10. NAKIVUBO ANAAZANNYIRWAMU?
Ebisaawe ebyamenyebwa okukozesebwa ttiimu mu kutendekebwa mu AFCON byalaga nga Hamz Stadium Nakivubo teriiko. Bangi beebuuza lwaki nga ekya FUFA Kadiba ne Kyambogo byakkirizibwa kyokka nga bikyaddaabirizibwa