By'olina okukola okugoba abakozi b'ebikolobero mu nju etannaggwa
Jun 16, 2021
OKUZIMBA ennyumba omuntu ayita mu mitendera egy’enjawulo okuli okuzimba omusingi, ebisenge, okuyiwa bbiimu, okukomerera n’okugiggala.

NewVision Reporter
@NewVision
Okusereka n’okuggala ennyumba bye bimu ku bintu ebirina okukolebwa omulundi ogumu ku nnyumba olw’ensonga nti booteekako emiti n’otateekako n’amabaati okumala ekiseera ekiwanvu gonooneka.
Mu mbeera eno abantu abasinga bakaluubirirwa okukuuma ennyumba zaabwe okuva eri abantu abayinza okuzikoleramu ebikolwa ebikyamu naddala abalina sayiti ezesudde n’ebifo we basula.
Ying. Fred Jjuuko Wavamunno yategeezezza nti ennyumba bwetuuka ku mutendera gw’okukomerera kyandibadde kirungi ne nteekateeka y’okuggala n’ekolebwa kubanga abakozi b’ebikolobero banguyirwa nnyo okuyingira mu nnyumba enkomerere okusinga ezitali.
Mu mbeera eno Jjuuko agamba nti omuntu yandibadde afaayo nnyo okulaba ng’ennyumba ye yonna agiggala omulundi gumu wabula embeera bw’eba egaanyi osobola okuteetenkanya nakubamu emiti oba amabaati okutangira abantu okumula gayingiramu.
Alina obusoboozi funa omukuumi omuteeke ku sayiti yo.
Zimba enkolegana ne baliraanwa bakuyambeko okumanya ebigenda mu maaso ku sayiti yo.
Alina ekinya kya kaabuyonjo weewala okukireka nga tegizimbiddwako okwewala obubenje n’abantu okugikozesa nga tennaba kuggwa.
EBIZIBU EBIRALA OMUNTU BYAFUNA OLW’OKUZIMBA ENNYUMBA MU BITUNDU TUNDU
Okubbibwa kw’ebizimbisibwa: Jjuuko agamba nti babba ebintu ku sayiti batera kubeera baliraanwa oba abazimbi b’oku kyalo be wali okozesezzaako.
Obulabe obuli mu kuleka ennyumba nga sinzigale okumala ekiseera
Abantu bayinza okukoleramu ebikolobero okugeza ebikolwa eby’obwenzi, obubbi, okunyweramu ebiragala n’ebirala.
Ssinga ebeera nga tayayibwa nkokoto abalogo bayinza okugisimbamu eddagala.
Ezimu zikola ensiiko ne zifuukira baliraanwa ekizibu okugeza okukuuma ebiwuka eby’obulabe okuli ensiri n’emisoto.
No Comment