Abalunzi mu ggwanga basattira lwa kyeya

Jun 17, 2021

ABALUNZI mu ggwanga batandise okusattira olw'omusana ogususse nga kati babuliddwa amazzi gebawa ensolo zaabwe ekiyinza okuziviirako okufa.

NewVision Reporter
@NewVision

Alex Tumwijukye omutuuze w’oku kyalo Nakabago mu gombolola ye Kyazanga mu disitulikiti ye Lwengo agamba nti kati bamaze ebbanga lya myeezi ebiri nga tebafuna nkuba ekintu ekitadde ebisolo ebisolo byabwe mu matigga.

Tumwijuke agamba nti ng’oggyeeko ebisolo byabwe okuba mu mattigga olw'ennyonta, ate n'ebirime nga ebijanjaalo ne kasooli omusana gubikutte nga tebinakula era ng'amakungula goolekedde okuba amatono ennyo olwo enjala egwiire abantu mu kitundu.

Ono agamba nti bamaze ebbanga nga basaba gavumenti ebayambe ebasimire zi ddaamu mu kitundu wabula nga tebayambibwa ekituntu ekitadde obulamu bw'abantu n'ebisolo mu matigga kubanga bonna bannywa ku mazzi ge gamu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});