Engeri gy'oyinza okukuuma materiyo abeera afisse ku sayiti

Jul 09, 2021

Okuzimba ennyumba, omuntu ayita mu mitendera egy’enjawulo kyokka abamu bakaluubirirwa okukuuma ebintu mu kuzimba ne matiiriyo abeera affisseewo.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Ponsiano Nsimbi

 

 Okuzimba ennyumba, omuntu ayita mu mitendera egy’enjawulo kyokka abamu bakaluubirirwa okukuuma ebintu mu kuzimba ne matiiriyo abeera affisseewo.

 

Ebimu ku bintu ebizibu okukuuma nga bisigaddewo kuliko sementi,omusenyu, amatoffaali n’amayinja wabula abakugu bagamba nti bino okuggyako sementi omuntu asobola okubikuuma okumala ekiseera.

Ni 2(3)

Ni 2(3)

 

Ebintu ebirala ebitawaanya okukuuma kuliko ebitiiyo, enkumbi, ebidomola n’ebirala naddala ssinga weesanga nga sayiti eri wala ne w’osula. Mu mbeera eno omuntu abeera alina okupangisa oba okufuna ekifo ekiriraanye sayiti waabitereka.

 

Ying. Baker Kakembo agamba nti sementi obutayonooneka alina okuterekebwa mu kifo ekikalu obulungi ate nga tekirimu bbugumu lisukkiridde.

Bw’aba affisseewo, alina okumutereka  ku mbaawo aleme kwekwata bitole ng’asibiddwako bulungi obutayitamu mpeewo.

 

Omusenyu: Kyekimu ku bintu ebisinga okwonooneka ssinga olemwa okugukuuma obulungi. Guno enkuba egukuluggusa, ebisolo biguzannyiramu n’abaana. Wabula guno okugukuuma weewale okuguteeka mu kkubo lya mukoka. Osobula okuguteekako bbulooka okwetooloola oba obukutiya obulimu ettaka.

 

Amatoffaali: Gano bwe gabeera age bbumba nga gajja bulungi gasobolerera ddala n’okumala emyaka 10 nga tegonoonese mazzi kyokka bwe gaba ag’ettaka osobola okugapanga ku musingi n’ogabikako ekiveera. Olina  okulaba ng’omusingi guno toguteeka mu kkubo lya mukoka.

 

Enkola endala ku matoffaali bwe gaba gajja bulungi oyinza okugaleka wansi. Kino kiyamba amazzi obutalegamamu. Amayinja bw’oba osobola wandibadde ogakozesa okuyiwa enkokoto ku kimu ku bisenge by’ennyumba okusinga okugalekawo.

 

Amayinja bwe galwa mu kifo gagendamu ettaka n’olwekyo okwewala kino gakozese.Funa omukuumi omuteeke ku sayiti yo kubanga emirundi egisinga sayiti bw’ebeera ewala ne w’osula kiwa ababbi omukisa okukuyiganya.

 

Ying. Fred Jjuuko Wavammuno owa Jjuuko Construction Uganda Ltd  agamba nti okwewala ebizibu bino olina okufuna omukugu n’akubalira ebintu ebyetaagisa mu kuzimba era awa abantu amagezi okuzimba mu mitendera okusinzira ku busobozi bwabwe.

 

Alina ennyumba etannagalwa wandibadde ogikubamu amabaati okutangira abamenyi b’amateeka okukoleramu ebyambyone.

 

Alina obusobozi zimba ekikomera oba okube ebibaati okwetoloola sayiti yo.

 

Abamu naddala abakomerera omusenyu oyinza okuguyoola n’ogutereka munda mu nnyumba.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});