EBIGAMBO EBY'AMAGEZI NE MARGARET NANKINGA

Oct 26, 2021

l Okutwagaza ensi yaffe, ensi yaffe eteekwa okuba nga yeeyagaza (Edmund Burke yali nzaalwa ya Ireland ang munnabyabufuzi era munnabyanfuna).

NewVision Reporter
@NewVision

l Ggambo bbi wamwenge alisanga ku mwoyo ( Njogera y’Abaganda)

l Buli omu agamba nti tayagala lugambo kyokka buli omu alunyumirwa (Joseph Conrad yali Mungereza alimu omusaayi gwa Poland nga muwandiisi wa butabo. )

Ekikulu si bwe bungi bw’ebintu by’ogaba naye omukwano gw’ossaamu ng’obigaba (Maama Tereza yali Muyindi enzaalwa ya Albania Eklezia gwe yalangirira  okuba Omutuukirivu) 

Ssekukkulu etegeeza okubaako akantu ak’enjawulo k’okolera omuntu omulala (Charles M. Schulz yali Mumerika omukubi w’obufaananyi obwogera) 

l Annakuggya ennimi ageya nnyoko ng’owulira (Njogera y’Abaganda)

l Omulimu gw’omukulembeze kwe kuggya abantu be we bali n’abatuusa we batatuukanga (Henry Kissinger wa myaka 98 munnabyabufuzi mu Amerika eyakolako nga omuwi w’ebyamagezi mu byokwerinda mu Amerika).

l Ggwe ttaka, ettaka ye ggwe (Merlin).

Ssekukkulu etegeeza  kuba n’abantu abasanyafu, abangi nga bwe kisoboka (Tupac Shakur yali munnakatemba era omuyimbi mu Amerika). 

l Omuze gufiira ku mugumba (Njogera y’Abaganda)

l Omuntu asinga okuba omugabi y’oyo atalina bya kugaba (Njogera y’Abafalansa).

l Ekibi kikira ehhoma okulawa (Njogera y’Abaganda)

l Abantu bwe bakutula emirandira egibakwataganya n’ettaka bafuuka bakumpanya. Tekyewalika, batandika okukumpanya (Ruth Almog muwandiisi wa butabo mu Yisirayiri. Wa  myaka 85).

l Atazze mbwa ye kumpi, nti eyange eyigga n’ekiro (Njogera y’Abaganda).

l Emboozi mulimu gwa bwongo, olugambo mulimu gwa lulimi ((J. Florio wa myaka 84, Mumerika yaliko Gavana wa New Jersey).

Engeri gy’omalamu olunaku lwa Ssekukkulu nkulu nnyo okusinga ssente z’olusaasaanyizzaako (Henry David Thoreau yali mufolosoofa Omumerika era omutontomi). 

l Ettaka omuntu ssekinnoomu ly’alinako obwannannyini gwe musingi gw’omulembe ogukulaakulanye (Ambrose Bierce yali Mumerika omuwandiisi w’obuboozi era munnamawulire).

l Atamanyi busungu bwa muddugavu amutikka ntamu (Njogera y’Abaganda)

l Omukulembeze toyinza kusaba bantu balala bakugoberere okuggyako nga naawe omanyi okugoberera (Sam Rayburn ye yali Sipiika owa 43 owa palamenti ya Amerika emanyiddwa nga House of Representatives).

Ekikulu ku Ssekukkulu si mbeera gy’olimu oba omwaka bwe gukuyisizza- Ssekukkulu etegeeza ntandikwa mpya (Kelly Clarkson Mumerika omuyimbi, omuwandiisi w’ennyimba aweereza ne ku tivvi. Wa myaka 39). 

l Ettaka kwe kubumbirwa ebyobuwangwa (Terry Williams wa myaka 73 yali mukubi wa hhoma ez’Ekizungu).

l Kamwa ka mwewoze kajja kawewedde (Njogera y’Abaganda)

l Ebintu ebisinga abantu bye baagala okumanya biba tebibakwatako (George Benard Shaw yali muwandiisi wa mizannyo nga nzaalwa ya Ireland).

l Kamwa kabi kassa Siroganga (Njogera y’Abaganda)

l Nze ndowooza nti ensibuko y’emirembe mu nsi yonna kwe kuba nga buli omu alinawo akataka k’ayita akake (Gladys Taber yali Mumerika omuwandiisi w’obutabo).

l Ono alya n’oli alya y’emmere ewooma (Njogera y’Abaganda)

l Ennaku teba y’omu (Njogera y’Abaganda)

l Oyo addira ebyama byo n’abyanika eri ensi tomubalira mu mikwano gyo (Publilius Syrus yali muwandiisi mu lulimi Olulattini, Yali Musiiri n’atundibwa obuddu mu Yitale )

l Essanyu teribeerera (Njogera y’Abaganda)

l Obuvumu ky’ekitone ekisinga byonna kubanga bw’oba tobulina oyinza okulemwa okukozesa ebitone ebirala ebyakuweebwa  (Samuel Johnson yali Mungereza omuwandiisi w’ebitabo n’ebitontome). 

l Toyinza kuba nnyini ttaka okutuusa ng’olirinako ebiggya, ng’oziiseeko abantu bo (Joan Didion wa myaka 86, Mumerika omuwandiisi w’ebitabo).

l Okusaba y’entandikwa y’okufuna. Laba nti togenda ku nnyanja na kagiiko. Lwakiri twala akalobo baleme okukusekerera (Jim Rohn yali Mumerika munnamakolero era omuwandiisi w’ebitabo). 

l Oyo asalawo oluguudo we lugenda okutandikira era y’asalawo gye lunaayita. Engeri gy’okolamu ekintu y’esalawo gye kinaggweera ( Harry Emerson yali munnaddini Omumerika mu kkanisa ya ‘Baptist’). 

l Ettaka ttukuvu. Ettaka ye nnyaffe, emigga gwe musaayi gwaffe. Bw’otuggyako ettaka lyaffe ng’otusse (Mary Brave yali Muyindi enzaalwa ya Amerika omukakaalukanyi era omuwandiisi w’ebitabo).

l Totya nti obulamu bwo bujja kuggwaawo. Ky’oba otya nti obulamu bwo buyinza obutaba na ntandikwa (John Henry Cardinal yali Mungereza munnaddiini). 

l Tewali ggwanga, ne bwe liba ttono litya era tewali nsi k’ebe ya maanyi etya etali ku ttaka libbe (Mark Twain amannya ge amatuufu ye Samuel Langhorne Clemens eyeeyitanga Mark Twain mu butabo bwe yawandiika. Yali mukubi wa bitabo era omusomesa mu Amerika).

l Omuntu kati addukire wa bw’aba nga w’ali kati y’ensi ensuubize! (Claude Brown yali Mumerika omuwandiid w’ebitabo).

l Omuntu bw’aba n’ettaka, ettaka lye liba limufuga (Ralph Waldo Emerson yali Mumerika omusomesa eyalwanyisa obuddu).

l Obukulembeze tekitegeeza kuwuttula mitwe gya bantu. Okwo kutulugunya si bubukulembeze (Dwight Eisenhower yali Pulezidenti wa Amerika owa 34).

l Omusajja omulungi tanoonyeza mukazi ku nguudo n’omukazi omulungi alinda omusajja n’amutuukirira (Sedalia).

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});