Engeri ebitooke Fhia ebigoba enjala gye bisikidde kayinja

ETTOOKE lya Fhia (soma ffiya) lituukira bulungi ku njogera egamba nti emmere embi terumya njala.Bangi babivuma nga bagamba nti tebiwooma mmere wadde amenvu naye mu mbeera ng’emmere egenda ekendeera kati ababirina basekera mu kikonde.Ebitooke bino nabyo birongooseemu, ng’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kunoonyereza ku byobulimi n’obulunzi mu ggwanga, ekya National Agricultural Research Organization (NARO), kye kyabigabira abalimi.

Ssaalongo Henry Lugoloobi ng’alaga emu ku nkota za fhia mu lusuku lwe.
By Jackson Ssewannyana
Journalists @New Vision

ETTOOKE lya Fhia (soma ffiya) lituukira bulungi ku njogera egamba nti emmere embi terumya njala.
Bangi babivuma nga bagamba nti tebiwooma mmere wadde amenvu naye mu mbeera ng’emmere egenda ekendeera kati ababirina basekera mu kikonde.
Ebitooke bino nabyo birongooseemu, ng’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kunoonyereza ku byobulimi n’obulunzi mu ggwanga, ekya National Agricultural Research Organization (NARO), kye kyabigabira abalimi.
Akulira okunoonyereza ku bitooke mu ggwanga, Dr. Priver Namanya agamba nti ebitooke fhia si be baabikola wabula byaggyibwa mu ttunduttundu lya Latin-Amerika mu ggwanga Honduras mu mwaka gwa 1996. Byaleetebwa ng’omu ku kaweefube ow’okununula Bannayuganda olw’ensuku zaabwe ezaali zikutuse.
Dr. Namanya agamba nti, ebiseera ebyo, obumu ku bulwadde bw’ebitooke obukambwe obwa Sigatoka, bwalumba ensuku naddala ez’omu ttunduttundu ly’omu massekkati erya Buganda.
Ekitongole kya NARO tebaalinawo nsigo za bitooke zonna zisobola kugumira bulwadde buno, okusobola okutaasa abantu enjega y’okusaanawo kw’ensuku zaabwe ez’ebitooke binnansangwa nga Mbwazirume, Kibuzi Nnakamaali n’ebirala.
Ebitundu ebyasinga okukosebwa obulwadde bwa Sigatoka kwaliko; Rakai, Greater Masaka, Mukono, Kayunga, Greater Luweero (Nakaseke, Nakasongola Ne Luweero) n’ebirala.
Aba NARO kye baakola, kwe kugenda mu Latin-America ne bafunayo ebitooke bya Fhia. Bwe baabituusa, babizaazaamu ne biwera nga beeyambisa enkola ey’ekikugu emanyiddwa nga ‘Tissue Culture’. Kino baakikola basinziira ku ttabi lyabwe ery’e Kawanda.
Mu kubireeta, baaleeta ebika bya Fhia ebiwerako. Ku bino kwaliko; Fhia 1, Fiah 3, Fhia 17 ne Fhia 25. Baamala akabanga nga babyekenneenya,
10 Bukedde
Mmande July 25, 2022
Engeri ebitooke Fhia ebigoba enjala gye bisikidde kayinja
era nga baayita n’abalimi nabo ne beetaba mu kubigezesa. Abalimi baasalawo okwettanira Fhia 17 ne Fhia 25. Ye Fhia 1 ne Fhia 3 tebyasanyusa balimi, era okusinziira ku Dr. Namaya, tewali abirima mu ggwanga.
Ebitooke bya Fhia, si byakufumbamu mmere. Fhia 17 obirya byengedde nga bw’olaba bbogoya, ndiizi ne kisubi. Ate ye Fhia 25, omukamulamu omubisi, oba n’omukolamu omwenge ekika kya ‘Wine’ n’ebirala.
ABALIMI BEENYUMIRIRIZA MU FHIA
Newankubadde ebitooke bya Fhia byaleetebwa lwa nnaakolantya n’ekiruubirirwa kya kutaasa Bannayuganda bagirenga waakiri bafuna kye basobola okusimba, abalimi abamu tokyasobola kubibaawulako.
Ssaalongo Henry Lugoloobi ow’e Namulonge y’omu ku balina ebitooke bino ebya Fhia. Wabula, amaanyi ge gali nnyo mu kulunda n’okulima ebika by’ebitooke ebirala.
Kale, mu lusuku lwe alinamu ebitooke bya Fhia byalumaggamagga. Era ye asinze kubyeyagaza lwa menvu ge bimuwa n’alyangako n’ab’omu makaage.
Mike Tumutegyereize, ye Munnayuganda omulala atendereza ebitooke bya Fhia. Ono mulimi ate era nga musuubuzi. Alima ebitooke n’emmwaanyi, era nga mu bitooke by’alina mwe muli n’ebya Fhia.
Omwezi ayunja enkota za Fhia nga 30, n’azitikka ku mmotoka n’azitwala mu katale k’e Ntugamo. Bw’azituusaayo, asinga kuziguza abasuubuzi b’e Kenya, South Sudan n’ebitundu ebirala. Enkota eyeegasa obulungi, bagimugulako wakati w’emitwalo 4 n’ekitundu nr mukaaga.
Ate enkota entonotono, azitunda wakati w’omutwalo gumu n’emitwalo ebiri n’ekitundu. Bw’abeera amalirizza okuggyako emisoso gyonna gy’asasula, aziggyamu amagoba ga mitwalo nga 50 buli mwezi.
Wabula ku nkota za Fhia z’ayunja mu lusuku lwe, atera okwongerako n’endala z’agula mu balimi ba Fhia abamwetoolodde. Ku Fhia we, bw’abeera asuubuliddeko owa balimi banne, kw’olwo akuhhaanya enkota nga 70. Zino zo bw’azitunda, omwezi azaawulako amagoba ga kakadde kamu n’ekitudu.
Olumu abasuubuzi Abanakenya bennyini be basooka okumukubira essimu ne bakola wooda olwo n’abiwenja mu lusuku lwe n’alyoka agulirako n’enkota za Fhia endala okuva mu b’oku kyalo abamwetoolodde abalina akamukamu.
“Mbadde musuubuzi wa gonja nga mutwala mu katale e Ntungamo. Wabula hhenda okulaba ng’abasuubuzi ba South Sudan n’abannakenya, baagala nnyo okugula enkota z’amatooke ga Fhia. Nange ku gonja kwe kutandika okuleeterako enkota za Fhia nga bbiri,” Tumutegyereize bw’anyumya gye yaggya okwettanira ebitooke bya Fhia.
“Bwe nalaba Fhia aliko omulyo, nagenda mu mikwano abaabirina, ne mbasaba ku nsigo zaabyo. Nasobola okubakuhhaanyaamu endukusa 15”.
Endukusa ze, yazisimba mu mmwaanyi. Wabula nti, emmwaanyi ezisinga agenze azitemawo, n’ayongera okusimamu ebinnya by’ebitooke bye bino. Era kati ayingidde ebikolo bya Fhia 80. Kati ayingidde emyaka esatu ng’alima ebitooke bya Fhia. Ate gye buggya alina enteekateeka etemawo emmwaanyi zonna, wonna asimbewo olusuku lwa Fhia.
Mu kusuubula Fhia, abaza. era nti, olumu bw’akitunulamu n’alaba ng’alinawo enkota za Fhia ntono, ate ng’okuzitambuza okuzitwala mu katale e Ntungamo ajja kuziteekamu ssente nnyingi ate zimusale, aziguzaamu ab’oku kyalo kye abazikamulamu omubisi n’okukola omwenge gw’ekika kya “Wine” ne walagi.
FHIA MMUKOLAMU WAYINI
Saverino Mbabazi, y’omu ku bakola wayini n’okufumba walagi mu matooke ga Fhia. Bizinensi eno yagitandika mu 2018. Wabula ye, Fhia gw’akozesa yenna y’amwerimira. Ono agamba nti, olusuku lwe lutudde ku yiika 8.
Buli mwezi, mu lusuku lwe, atemamu emirundi ebiri. Omulundi ogumu atemamu ng’agenda kukola wayini ate omulala n’atemamu ng’agenda kufumba walagi.
Ng’anaakola wayini, waliwo omutendera gw’atuukako, omubisi gw’abikamuddemu, n’agugattamu n’ebisassalala ebirimu omubisi gw’enjuki. Ate era okukozesa kkiro 7 ez’omubisi gw’enjuki, nga buli kkiro agigula 15,000/-.
Bw’abeera yatemye enkota za Fhia nga 60, atera okuzifunamu ebidomola nga 9 ebya wayini. Bwe bibeera bimutambulidde bulungi, asobola n’okufuna akakadde mu mitwalo 30, ng’atunze ebidomola bye ebya wayini omwenda.
Wabula, okukola walagi, kw’asinga okwagala, kuba wayini ayita mu mitendera mingi egitwala ekiseera ekiwanvu. Wayini ayinza okumukulungulako wiiki nga ssatu, ate nga walagi ye mu wiiki emu n’ekitundu abeera amalirizza okumukola.
Era nti ekidomola kya wayini ky’ava akiseera. Kino atera kutitunda emitwalo 15 naddala eri abo abagula akamukamu. Okuleka ng’ogula mu bungi ng’ab’emikolo, awo asobola okukusalirako n’akikuguza ku mitwalo nga 12.
Naye waliwo wayini gw’apakira n’assa mu bucupa obwa miiru 200. Buli kamu, akatunda 1,000/-, ate era okufunayo abaguzi, ne babumugulako kiganda kya 12.
Akatale katandikira ku natuuze mu kitundu ne keeyongerayo oku tuuka e Kampala. Ekizomola kya waragi kigula wakati wa 80,000/- ne 90,000