'Omukwano omwami wange gw’ampa sitoma'

Nov 04, 2022

Sophie Kawooya akunnyonnyola omukwano gwe n'okuzannya firimu.

NewVision Reporter
@NewVision

Wamma, abakyala abakolera mu Kampala bakola gwa kwetega abasajja abanaabassaamu ssente nga beefuula abalina bizinensi...?

Mbiwulira naye sibirinaako bukakafu engeri gye mbeera bbize ku mirimu gyange.

Anti mbadde nkwebuuzaako kuba engeri gy’onyirira nga nneebuuza nnamukisa akuyiwamu empapula.

Ssebo nze ndi mukyala mufumbo eyawasibwa ateefumbiza ng’abalala. Noolwekyo,
ow’ewange yeeyama okundabirira y’ensonga lwaki nnyirira nga bw’ondaba.

Maama, mukyala gundi, amannya gwe ani?
Sophie Kawooya… Erya Kawooya lya taata.

Ekitegeeza olina erinnya limu, kuba Kawooya lya kitaawo ssi liryo ate bw’onaava ku Kawooya ng’oyongerako erya mutabani w’oli eyakuwasa...

Eryo taata lye yampa.

Olwo omwana wa bandi bw’aba takozesezza lya Sophie ate
nga ne kitaawo waali...ye mu ssaawa eri bw’akuyita Kawooya tebalowooza nti laavu alina ya bikukujju?

Anti yantuuma dda agage, ate oba n’erya Sophie talimpita.

Olwo akweyitira ani?
Owange, oyagala bamukoppe, ago gaffe, era tugakuuma kaffecce.!

Olwo gwe akola, okwataganya otya bizinensi n’ensonga z’awaka?
Buli kimu nkiwa obudde bwakyo naye ng’obudde bwange nsinga kubuwa mwami wange kubanga buli ky’anaalya nze nkikolako anti nze mmanyi ebimuwoomera.

Ho, olwo onoomukkiriza okufunayo
haki endala?
Kizibu era nnali njagala Amahare nsabe butanzizaako mukazi omulala.

Nago bagasaba, olwo bw’awasa omulala, ogazzaayo otya?
Ago tegaddizibwayo bw’afuna omulala kitegeeza aba antalase.

Abasajja naddala Abasiraamu bamanyi okugaana bakyala baabwe okukola, gwe wakikola otya okukukkiriza?
Nze omwami wange mukwano gwange, twakkiriziganya era ne kapito ye yamumpa. Abakyala abamu be baleetera abaami okubagaana okukola anti omu bw’afunamu akasente afuuka musajja waakubiri awaka. Nze nasigala wansi wa bigere bya mwami
wange.

Weekuumye otya ng’onyirira n’obulungi bw’oliko?
Ekinkuuma gwe mukwano omwami wange gw’ampa n’okuzannya firimu kuba binkuuma nga ndi musanyufu.

Ekisaawe ky’okuzannya firimu mu Uganda kiri kitya era abaagala okukiyingiramu obawa magezi ki?
Sikirinaako buzibu kubanga nakiyingira nkyagala. Amagezi ge mbawa, singa obeera mufumbo sooka okkaanye ne balo kubanga abaami abamu balowoonza nti tuba mu birala so nga ffirimu nagwo mulimu ng’emirala.

Muzannyi ki owa ffirimu gwe weegomba kuno n’ebweru?
March Johnson Okeke. Nneegomba nnyo engeri gy’akwatamu amaka ge n’omulimu gwe ogwa ffirimu.
Wano sinnafunawo gwe nneengomba kuba tuli ku ‘level’ yeemu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});