Bino tobibuusa maaso ng’ogula mmotoka enkadde
Nov 29, 2022
MU mateeka, kye bayita mmotoka ye ffuleemu yaayo okuli ennamba ebisigadde bisobola okuteekebwako ebirala ebigisobozesa okutambula ku kkubo ssinga bikoleddwa mu butuufu bwabyo.

NewVision Reporter
@NewVision
Mmotoka enkadde ezitundibwa mulimu ezitambula nga nnamu mu byonna, ezirimu ebifu ebingi wabula nga nazo zitambula, eziri ku bikondo nga zaggyibwamu yingini n’ebirala ssaako n’ezo ezeetaaga okuzzibwa obuggya ebintu ebisinga wabula nga zonna zisigala nga mmotoka.
Cindy Nakigudde, nga mukugu mu kukanika n’okwebuuzibwako ku bya mmotoka annyonnyola ebintu agula mmotoka enkadde bye yanditunuulidde mu nsengeka yaabyo ng’atandika n’ebyo ebisinga obukulu.
- Obwannannyini: Buno buyinza okuba kkaadi yaayo oba endagaano kwe yagulirwa okwewala okugula emmotoka enzibe oba eriko emisango n’enkaayana
- Endabika yaayo kungulu ne munda : Okukakasa nti, n’akayunba ka mmotoka tekafunangamu kigwo nga bwe kagololwa n’okugikola munda eddamu n’etereera.
-Yingini ne ggiya bbookisi: Bino nabyo bikulu wabula ne bwebiba nga bifu bisobola okukolebwa oba okuteekamu ebirala nga mumaze okutegeeregana ku bbeeyi mmotoka n’etereera.
-Emipiira, langi, ssakabuzooba, bbaatule n’ebirala ebigwa mu kkowe eryo biba bya kutegeeragana nga bisinziira mu ssente z’ogenda okugigula.
No Comment