Omwoleso gwa Harvest Money gukomyewo na maanyi

Jan 18, 2023

OMWOLESO gwa Harvest Money Expo ogutegekebwa Vision Group etwala ne Bukedde gukomyewo.

NewVision Reporter
@NewVision

Rogers Anguzu, akulira okutumbula enteekateeka za Vision Group yagambye nti ennaku z’omwoleso guno zikyusiddwa okuva ku wiikendi ya 17-19 February, okudda ku ya February 10-12 mu kisaawe e Kololo.

“Nga bulijjo, tugenda kubeera n’emisomo egy’enjawolo egikwata ku bulimi n’obulunzi egiyigiriza abantu okuddukanya amalundiro ne ssamba nga bizinensi. Okuyingira mu mwoleso osasula 10,000/- ate okwetaba mu misomo nayo osasula 10,000/- buli lunaku,” bwe yagambye.

Okusinziira ku Anguzu, omwoleso gwa kuleeta abantu bonna abalina bye bakola mu bulimi n’obulunzi okutandikira ku bawanguzi b’empaka z’omulimi asinga, ebitongole bya gavumenti ne minisitule, kkampuni z’obwannannyini eza kuno n’ez’ebweru.

“Omwoleso guwa abalimi n’abalunzi omukisa okufuna ebikozesebwa eby’omutindo okuva ku nsigo, ebigimusa, eddagala, ebyuma, ebigatta omutindo ku makungula, ebiyamba okukwataganya amakungula okusigala nga ga mutindo, obutale n’ebirala,” bw’agamba.

Omwoleso guwagirwa ekitebe kya Budaaki mu Uganda, kkampuni ya Champrisa International ne Engineering Solutions (ENGSOL).

Dr. Samuel Ssewagudde okuva mu Trouw NV abakola ekirungo kya Hendrix ekituusibwa kkampuni ya Champrisa International agamba nti bagenda kukozesa omudaala gwabwe okusomesa abalimi n’abalunzi ku ngeri gye basobola okufuna mu malundiro gaabwe.

“Omudaala gwaffe tugenda kugujjuza ebirungo eby’omulembe okuyamba omulunzi okukwataganya ensaasaanya yaabwe olwo bafune amagoba agawera. Ku mudaala, tugenda kubeera n’abakugu abagenda okunnyonnyola abalunzi entabula y’emmere entuufu, ebyuma ebikebera obutwa mu birungo by’emmere n’ebirungo ebigirimu”, bw’agamba.

Med Mwiri, kitunzi wa Engineering Solutions Ltd, agamba nti bagenda kwolesa ebyuma byonna ebikozesebwa mu kulima n’okulunda naddala tulakita n’ebyuma byazo okulaba nga batumbula obulimi n’obulunzi.

“Omwoleso gufuuse kya kuddamu eri ebibuuzo by’abalimi n’abalunzi mu Uganda buli mwaka nga kati bagulindirira okwegulira ku byamaguzi eby’omutindo ebisaliddwaako.

Omwaka guno, ebyuma bya ENGSOL bya kusalibwako okutuuka ku bitundu 20 ku 100 eri abo abanaagula mu nnaku z’omwoleso essatu”, bw’agamba.

Enkola ya Warehouse Receipting System, yassibwawo gavumenti ya Uganda okuyamba abalimi okukozesa amakungula gaabwe ng’omusingo okufuna ssente okuva mu bitongole ebiwola ssente.

Bano nabo batadde ssente mu mwoleso era bagenda kubeerawo okusomesa abalimi ku nkola eno n’engeri gye basobola okugiganyulwamu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});