Enzimba etunuuliddwa okwettanira mu 2023

Feb 04, 2023

ABANTU okweyongera mu bibuga, ebyobulamu, ebizimbisibwa ebibi n’obumenyi bw’amateeka bigenda kusalawo kinene ku nzimba egenda okwettanirwa ng’abantu abazimba amayumba g’ebyobusuubuzi n’agasulwamu mu 2023.

NewVision Reporter
@NewVision

ABANTU okweyongera mu bibuga, ebyobulamu, ebizimbisibwa ebibi n’obumenyi bw’amateeka bigenda kusalawo kinene ku nzimba egenda okwettanirwa ng’abantu abazimba amayumba g’ebyobusuubuzi n’agasulwamu mu 2023.
Ekitongole kya National Bureau of Statistics ekivunaanyizibwa okubala obungi
bw’abantu n’ebintu mu ggwanga kigamba nti omwaka gwa 2019 we gwaggweerako nga Uganda erina obwetaavu bw’amayumbaagawera 1,700,000 nga Kampala mwokka obwetaavu bwa 550,000.
We gunaatuukira mu 2030, obwetaavu busuubirwa okuba nga butuuse ku mayumba 3,000,000.
Abali mu mulimu gw’okuzimba bongedde okuyiiya enzimba y’amayumba agategekeddwa obulungi, awamu n’ebinyiriza ennyumba wabweru ne munda
eby’omulembe.
Abdu-Wahab Nyanzi agamba mu bibuga ennyumba z’abapangisa ez’omuzigo ogumu
zigenda kweyongera okufuna akatale. Kino kigenda kuba ku bungi bw’abavubuka abeesogga ekibuga buli olukya okufuna emirimu.
Kyokka enzimba ejja kukyukamu nga bafa nnyo ku mbeera eyamba abantu okufuna
twekisize (privacy), effumbiro ery’omulembe era nga n’omuzigo munene bulungi omuntu mwasobola okukolera ebintu ebisukka ku kwebakamu kyokka.
Embeera y’ababbi egenda ewaliriza abantu okukozesa tekinologiya ow’omulembe
anyweza eby’okwerinda ewaka.
Enkola y’okukozesa ebintu ng’ebinkumu ng’oyingira ku mulyango oba n’enzigi okweggula zokka ng’ozituseeko. Ekirungi tekinologiya waali gwe bateeka ku nzigi kazibeere za byuma oba mbaawo.
Okweyambisa ettaala ezikozesa amaanyi g’enjuba naddala 18 Bukedde Lwamukaaga February 4, 2022
 Teweenyooma naawe osobola okuzimba Enzimba etunuuliddwa
okwettanira mu 2023 wabweru kigenda kwettanirwa. Kino kigenda kuva ku bbeeyi
y’amasannyalaze eri waggulu n’ekyokubeera nti gavaako nnyo. Ekirungi ebintu ebikozesa amaanyi g’enjuba byeyongedde omutindo n’obuwangaazi.
Enzimba y’okubikka amabaati waggulu nga tegalabika yeeyongedde okukyaka olw’okuba ekekkereza. Kino kiva mu mbeera nti abazimba tebatawaana kugula mabaati ga bbeeyi kuba gaba tegagenda kulabika. Kyokka olina okufuna omukugu gwe weekakasa kuba abamu zibatabukako amazzi ne gayingira mu bisenge

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});