Ensigo z'obummonde obuzungu obuwa amakungula amanene
Feb 23, 2023
OBUMMONDE mmere erina akatale ekiseera kyonna olw’okuba nti bukozesebwa mu bintu eby’enjawulo ate nga ne mu maka buliibwa.

NewVision Reporter
@NewVision
Wabula, obummonde bumanyiddwa kulimirwa mu bitundu bya nsozi n’obunnyogovu gamba nga Kabaale, Mbale, Kisoro n’ebirala wabula butandise okulimwa mu Buganda mu bitundu bya Rakai.
Ensigo Y'obummonde Obutandise Okumesa.
Patrick Tumwesigye omulimi w’obummonde ku kyalo Kijjako mu ggombolola y’e Lwamaggwa mu disitulikiti y’e Rakai agamba nti obummonde bizinensi efuna ssinga omanya ky’oteekeddwa okukola ate nga si bya maanyi.
“Nasalawo okulima akammonde kuba kalina akatale essaawa yonna ate nga kafuna nti ne bw’otafuna magoba mangi waakiri osobola okufuna ssente z’otaddemu, kangu kaakulima ate nga kakula mangu anti kakulira mu myezi esatu gyokka”, bw’agamba.
Tumwesigye Ng'alaga Obummonde Bwe Bubala.
Ensigo
Tumwesigye agamba nti kikulu okufuna ensigo ekika ekirungi ate nga ntuufu bw’obeera onaafuna mu bumonde kuba singa ofuna enfu amaanyi gonna gagenda ku kufiira bwereere.
“Waliwo ebika by’obummonde eby’enjawulo ebisimbibwa abantu mu bitundu eby’enjawulo wabula ggwe agenda okusimba obumonde nga bizinensi wandibadde obeera mwegendereza ku kifo w’ogula ensigo kuba ensigo entuufu erina kufunibwa ku bummonde obwekuzizza obulungi”, bw’agamba.
Asimba Bomonde kika kya Setanta nga kino yakiggya Bungereza ky’agamba nti kigumira ekyeya ate nga kibala ekiwera olwo ggwe ataddemu ssente n’ofuniramu ddala.
Dr. Alex Barekye akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kunoonyereza ku lumonde ekya Kachwekano Zonal Agricultural Research and Development Institute (KaZARD), wansi w’ekitongole kivunaanyizibwa ku kunoonyereza ku birime ekya National Agricultural Research Organization (NARO) agamba nti baliko ebika eby’enjawulo bye bafulumya okutumbula okulima kw’obummonde mu ggwanga.
Ng’ekitongole, balina obuvunaanyizibwa okulaba nga bafulumya ebika ebisobola okulimibwa mu bitundu by’eggwanga byonna okusinziira ku mbeera y’obudde, obulwadde, akatale n’ebirala era mu kiseera kino baliko ebika eby’enjawulo bye bamaze okufulumya.
“Ensigo kukyali kusoomooza kwa maanyi mu kulima obummonde ate nga ensigo yokka etwala ebitundu 50 ku 100 eby’amakungula kyokka nga mu kiseera kino abalimi bafuna ebitundu 15 ku 100 byokka eby’ensigo y’omutindo gye beetaaga okusimba”, bw’agamba.
Ono agamba nti bafulumizza ebika nga Kinigi nga buno businga kulimibwa Kisoro, NAROPOT4 obumanyiddwa nga Rwangume nga buno bukola bulungi mu bitundu byonna. Victoria, kika kikola bulungi mu bitundu byonna kyokka kitawaanyizibwa nnyo obulwadde ekyongeza ensaasanya olw’okufuuyira.
Ekitongole era kifulumizza NAROPOT1 ne Catchpot 1. Ensigo erina okuterekebwa mu kifo ekikalu kyokka nga kiweweevu ate kyandibadde kirungi ekifo ne kibeeramu akazikiza nga kino kikendeeza okumera amangu.
Bw’obeera ogenda kusimba yiika, weetaaga ensawo mukaaga nga buli nsawo ebeera wakati wa 180,000/- ne 200,000/- okusinziira ku katale n’ekifo w’obugula.
No Comment