Engeri gy'okumaamu olusuku olulina emmwaanyi
Mar 29, 2023
Bantu bangi abasimba ebitooke mu mmwaanyi ensangi zino. Naye, omanyi by'oteekeddwa okugoberera okufuna ekisinga?

NewVision Reporter
@NewVision
NGA gavumenti ya wakati n’ey’e Mmengo zigenda mu maaso okukubiriza abantu okulima emmwaanyi, bangi bazisimbamu ebitooke. Naye omanyi by'oteekeddwa okugoberera okufuna ekisinga?
Lubega Ng'asimba Enkondo Ku Matooke Ge.
Philly Lubega, nannyini Philly Mixed farm-Saayi esangibwa ku kyalo Ssaayi mu ggombolola y’e Ntenjeru mu Mukono agamba nti olusuku olussibwamu emmwaanyi lusimbibwa mu ngeri ya njawulo ku lw’ebitooke byokka okutandikira ku mabanga, endiisa, okutta ebiwuka n’ebirala okusobozesa ettaka okusigala nga liriisa ebirime byombi ate nga bikuwa ekiwera.
“Bw’omala okulongoosa w’ogenda okussa olusuku omuli okusaawa, okukabala n’okukendeeza emiti osima ebinnya ebigazi obulungi nga bya ffuuti 2 ku 3 ne wansi ffuuti 2 mu mabanga ga fuuti 14 ku 14, olwo yiika n’egendamu ebitooke 150. Ettaka eriddugavu lisse lyokka n’erimyufu lyokka,” bw’agamba.
Annyonnyola nti funa nnakavundira okuli; obusa obuwoze obulungi oba kalimbwe otambule mu ttaka eriddugavu ng’olizzizza mu kinnya. Wano linda wiiki bbiri ku mwezi olyoke osseemu ensukusa.
Lubega Ng'alabirira Emmwaanyi.
Ayongerako nti okutta ebiwuka mu ensukusa gy’ogenda okusimba kikulu nga wano akozesa eddagala ezzungu oba susu (Omusulo gw’abantu) gw’akung’aanya okuva mu mabaala olwo n’agussa mu ppipa n’atabulamu amazzi, kaamulali, evvu n’ebirala n’annyikamu ensukusa okumala essaawa 24 nga tannaba kugisimba.
“Wano mbeera nzise ebiwuka byonna ebyandinsumbuye mu lusuku kuba ssinga ebiwuka biyingira bibeera bizibu okulwanyisa okugoba mu lusuku ng’ekisinga kwe kubitangira okuyingira mu ngeri yonna gy’osobola,” bw’agamba.
Olw'okuba ettaka libeera liriisa emmwaanyi ate n'ebitooke, olina okululiisa buli sizoni ya nkuba ng'ossaamu ebigimusa olwo ettaka lisigale nga likuwa enkota ezeegasa ate n'emmwaanyi ezisitowa.
No Comment