AMAMBULUGGA gasinga kutawaanya baana abato, era nga ebiseera ebisinga batera
okuzimba okuliraana amatu oba wansi w’amatama. Amambuluga bulwadde obukwata era abaana bagatambuza okuva ku omu okudda ku mulala, ky’ova olaba nga bubakwatira nnyo ku masomero.
1. Bw’olaba ng’omwana wo akwatiddwa obulwadde buno, funa entula ogiwummulemu
ekituli oyiseemu ekyayi kya gonja ogimusibe mu bulago nga kino kigaziyiza okukka mu bitundu by’ekyama kubanga gabikosa mmyo naddala mu balenzi, omwana ayinza okufa obusajja. Oba musibe akaso mu kifuba galeme kukka.
2. Ekirala, kolokota enziro za ssepiki ogigatte wamu n’obukoola bw’ejjobyo obiyenge omusiige mpolampola.
3. Osobola n’okufuna enje y’omuwafu ekaze n’ogyasaamu n’oggyamu akasigo akabeera
munda n’okasekula n’osiiga ku matama g’omwanaagazimbagatanye.
4. N’akatuntunu akatono nako kalungi, era obukoola bwako osobola okubuyenga mu
mazzi amayonjo amatokoseeko n’ogasuza wabweru n’okeera n’owa omwana n’anywako.
5. Mu ngeri y’emu n’obukoola bw’akakwansokwanso bw’obunoga n’obuyenga n’owangako omwana n’anywa afunawo enjawulo.
6. Ku matama g’omwana alwadde osobola n’okusekula ekitengotengo ekinene n’osiigako, era nakyo kimuyamba.
7. Wabula osobola n’okufuna lumonde n’omufumbirako ebikuta n’omusuza wabweru
oba mu nsuwa ejjudde amazzi n’annyogoga olwo ku makyan’omuggyako ebikuta n’omuwa omwana w’amambulugga n’amulya, ate ebikuta byo n’obimusiiga ku matama agamuzimbye ku makya . Omulwadde w’amambulugga tabuuka masahhanzira kugasaasaanya buli wamu ate alina n’okwewala ebifo ebirimu ebbugumu kubanga ligasajjula