Ssente kati ziri mu bummonde
Jul 02, 2023
OLUVANNYUMA lw’ekiseera ekiwanvu ng’abasuubuzi n’abaguzi b’obummonde bangi babwesonyiye olw’obuseere n’omutindo omubi, embeera ekyuseemu. Kati butandise okulabika era ayagala ssente, bw’otandika okubutunda, ofuna kuba n’ababwetaaga babulinamu ennyonta.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Samuel Balagadde
OLUVANNYUMA lw’ekiseera ekiwanvu ng’abasuubuzi n’abaguzi b’obummonde bangi babwesonyiye olw’obuseere n’omutindo omubi, embeera ekyuseemu. Kati butandise okulabika era ayagala ssente, bw’otandika okubutunda, ofuna kuba n’ababwetaaga babulinamu ennyonta.
Bangi ku basuubuzi b’ebirime ebirala babivuddeko ne badda ku bummonde kuba butambula.
Bbeeyi yaabwo yasalise kumpi ebitundu 50 ku 100 kino ne kyongera okuzza bizinensi yaabwo eyali esalise, engulu.
Wadde obummonde obusinga obutundibwa kuno buva Kenya ku muliraano nga bujja bupakiddwa mu kasawo ka sukaali aka kkiro 50, akabadde ku 150,000/- kati kasse okutuuka ku 80,000/-.
Omulengo gwabwo ogubadde ku 5,000/- gye buvuddeko kati gwa 2,000/- oba 3,000/- okusinziira ku kifo ate ng’ababutunda basigadde bafunako amagoba kuba n’ababugula beeyongedde ate batwala mu bungi.
Akasawo k’oguze 80,000/-, bw’okalejjesa mu mirengo osobola okufunako amagoba ga 15,000/-.
Kati ggwe ayagala okufuna ssente ez’amangu, gezaako okusuubula obummonde. Ate bw’oba mu kifo ekigazi omuli n’abaguzi abangi, ofunirako ddala akawera.
Binnyonyoddwa Martin Masinde omusuubuzi w’obummonde mu Kisenyi mu Kampala.
No Comment