Engeri y'okufuna mu bummonde

Mar 27, 2023

OLW'OKUBA obummonde obulimibwa wano mu ggwanga bututte ekiseera nga tebukyasobola kumatiza bwetaavu bwabwo ku katale.  Obuddukiro kati buli kw'obwo obuva mu mawanga ag'omuliraano

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Samuel Balagadde

OLW'OKUBA obummonde obulimibwa wano mu ggwanga bututte ekiseera nga tebukyasobola kumatiza bwetaavu bwabwo ku katale.  Obuddukiro kati buli kw'obwo obuva mu mawanga ag'omuliraano.

Kenya ne Tanzania batutte ekiseera nga be bawaniridde akatale ka Uganda ak'obummonde nga kuno kw'ogattiriza obutono obuba bulabiseewo obulimibwa mu
Uganda mu bitundu by'e Kisoro, Singo, Mbale n'awalala wabula nga bulabikako akaseera kato ne bubula.

Bangi ku bantu baabulijjo obummonde baabuvuddeko olw'obuseere kwe buli
ng'akakutiya k'obwo obuva mu Kenya kaalinnye okuva ku ssente 95,000/- okutuuka
wakati wa 135,000/- ne 140,000/-.

Obwa Tanzania akakutiya kali ku 150,000/- okudda waggulu ate ensawo y'obwo obwa
Singo enswo eri ku 270,000/- okudda waggulu .

Mu Kenya butundibwa mu kkiro ng'akakutiya akamu kabaamu nga kkiro 65 nga
bw'ovungisa mu za Uaganda kaggweera mu 95,000/- era bw'oggyako ez'entambula
okuva ku ssente 7,000/- okutuuka ku 10,000/- kaggweera mu 115,000/- wabula nga
mu ku katunda nga katuuse wano kali ku 135,000/- ne ku 140,000/-.

Akasawo akamu kaliko amagoba nga ga 25,000/- nga bw'osuubira obusawo 100 ze
ssente 2,500,000/-.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});