Ebintu 7 by'okola ne biziyiza okusannyalala

Apr 03, 2025

Endya ennungi nga weeyunire emmere ey’obutonde eteekeddwateekeddwa obulungi awatali kugikyusakyusa oba okusiikasiika n’okupakirwa mu mikebe, eraweewale n’ebyamasavu.

NewVision Reporter
@NewVision

Dr. Isaac Kakooza Musago, omusawo omukugu mu kujjanjabisa dduyiro (Physiotherapist) akolera ku Mobile Phyzio e Kansanga, agamba nti, teri kusannyalala kuva mu binaabiro wabula embeera y’okusannyaalala w’ebeera ekukwatidde nga bwe kisobola okutuukawo ng’oli mu kifo ekirala kyonna.

Ebintu by'osobola okukola ne biziyiza okusannyalala
1 Endya ennungi nga weeyunire emmere ey’obutonde eteekeddwateekeddwa obulungi awatali kugikyusakyusa oba okusiikasiika n’okupakirwa mu mikebe, era
weewale n’ebyamasavu.

2 Weewale okulya ebintu by’omunnyo ogusukkiridde, kuba gulinnyisa puleesa ekosa obwongo.

3 Okufuna obujjanjabi obwetaagisa eri obulwadde bwa sukaali kuba akosa emisuwa.

4 Okwettanira dduyiro kuba asala amasavu agateetaagisa mu mubiri agazibikira emisuwa, ate n’okusala omugejjo oguvaako puleesa.

Wettanire Nnyo Dduyiro Ousala Omugejjo

Wettanire Nnyo Dduyiro Ousala Omugejjo

5 Abantu banyiikire okwekebeza puleesa okusobola okufuna obujjanjabi nga bukyali.

6 Okwewala ebintu ebireeta situleesi, erinnyisa puleesa ekikosa obwongo.

7 Okwewala okufuuweeta sigala, n’ebiragalalagala ebirala ssaako ebitamiiza ebikosa obwongo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});