Obujjanjabi obusookerwako ng’olumiddwa ensiri
Mar 26, 2024
ENSIRI kye kimu ku biwuka ebisinga okutawaanya omwana w’omuntu. Abakugu mubyobulamu bagamba nti ensiri enkazi ze ziruma abantu nga zinoonya emmere ey’omusaayi. Era ensiri zino tezisobola kubiika nga teziyonse ku musaayi.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Musasi Waffe
ENSIRI kye kimu ku biwuka ebisinga okutawaanya omwana w’omuntu. Abakugu mu
byobulamu bagamba nti ensiri enkazi ze ziruma abantu nga zinoonya emmere ey’omusaayi. Era ensiri zino tezisobola kubiika nga teziyonse ku musaayi.
Emibiri gy’abantu gyanukula mu ngeri ya njawulo nga girumiddwa ensiri.
Abamu tebalina kye baba ate abalala bayisibwa bubi, ne bafuna okusiiyibwa, obutulututtu, n’okulunguula, singa ensiri efumita omumwa gwayo mu mibiri gyabwe.
Okusinziira ku mukutu gwa https://www.cdc.gov, abaana abato, n’abantu abakulu abalumiddwa ekika ky’ensiri ekitabalumangako, be basinga okukosebwa ennyo.
Singa ensiri zikuluma ne zikuleetera okuzimba n’okusiiyibwa, kola bino wammanga osobole okufuna ku buweerero.
l Naaza ensiri we yakulumye, ng’okozesa ssabbuuni n’amazzi amayonjo.
l Funa bbalaafu omuzinge mu kagoye, oteeke ku mubiri gwo mu kifo ensiri we yakulumye, okumala eddakiika nga 10. Kino kikuyamba okukendeeza ku kusiiyibwa,
n’omubiri okweyongera okuzimba.
Bw’oba olina ekirungo kya Soda bi-carbonate, ekikozesebwa mu kukola ebyokulya eby’engaano, kitabule mu mazzi, osiigewo, kikuwonye okusiiyibwa.
l Togezaako kutakula mu kifo ensiri w’ekulumye, kubanga ojja kusajjula obuvune
n’obulumi. Bw’oba oliranye awali eddwaaliro, gendayo bakuwe ku ddagala erisinga amaanyi, singa okusiiyibwa n’obulumi bigaana okugenda.
l Naye ekisinga obukulu kwe kwebaka mu katimba k’ensiri, ensiri zireme
kukuluma.
No Comment