TAKISI ebadde etwala abapoliisi okutendekebwa e Kabalye mu disitulikiti ya Masindi egudde ku babenje bana ne ne bafuna ebisago ne baddusibwa mu ddwaliro e Kasana okufunabobujjanjabi.
TAKISI ebadde etwala abapoliisi okutendekebwa e Kabalye mu disitulikiti ya Masindi egudde ku babenje bana ne ne bafuna ebisago ne baddusibwa mu ddwaliro e Kasana okufunabobujjanjabi.
Bino byagudde ku kyalo Kibanga e Kukyusa ku luguudo oluva e Luweero okudda e Kikyusa ku lw'okutaano ku makya takisi UBL 426H bwe yayambalaganye ne loole ekika kya Tata UBS 925E eyabadde etisse ebikajjo ng'eyimiridde mu kkubo.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna ASP Sam Twineamazima ategeezezza nti abagenda okutendekebwa poliisi takisi yabadde ebagya Busoga okuboolekeza e Kabalye nga bwe baatuuse mu kitundu kino enfuufu n'ebuutikira ekkubo n'ayambalira loole.
Abaaluziddwa mulimu Kevin Okello (22) ow'e Kakira Jinja, Shaban Moru (24) okuva e Jinja, Eric Joseph Kirunda (20) okuva e Bugweri ne kondakita wa takisi Emmanuel Muzito ow'e Mbikko.
Poliisi egambye akabenje kaavudde ku kuvuga nsiima n'asaba abavuzi b'ebidduka okubeera abeegendereza naddala nga bali kunguudobeziriko enfuufu.