Obujjanjabi obusookerwako ng’ensingo efunye obuzibu
Feb 12, 2024
Ssinga omuntu afuna obuvune ku nsingo, Joseph Mary Ssenkumba okuva mu Association of Ambulance Professionals of Uganda akulaga engeri gy’oyinza okuyambamu omuntu oyo okumuwa obujjanjabi obusookerwako.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Musasi Waffe
ENSINGO kye kimu ku bitundu ebisinga omugaso ku mubiri gw’omuntu kuba erina emisuwa egigenda ku bwongo, eyitamu emikutu egitwala emmere mu lubuto, mwe muyita emikutu egitwala omukka gwe tussa okuva mu kamwa, mu nnyindo okutuuka mu mawuggwe era ensingo eyitamu enkizi ng’eno nkulu nnyo kuba y’etambulirwako omubiri gwonna. Noolwekyo ensingo bw’efuna obuzibu bwonna, omuntu ayinza okufa.
Wabula ssinga omuntu afuna obuvune ku nsingo, Joseph Mary Ssenkumba okuva mu Association of Ambulance Professionals of Uganda akulaga engeri gy’oyinza okuyambamu omuntu oyo okumuwa obujjanjabi obusookerwako;
Ssinga omuntu amenyeka oba akutuka ensingo oba okwefundikira, olina kusooka kuyita bakugu nga tonnakwata ku muntu oyo. Kuba ensingo kitundu kya kwegendereza nnyo. Oyinza okwongera okwonoono bw’oba ensingo togirinaamu bukugu.
Bw’omala okukubira abasawo, weetegereze omulwadde oba akyassa, tannazimba oba okwabika emisuwa egitambuza omusaayi n’omukka kuba ensingo bw’emenyeka omusaayi guyinza okwesiba.
Bw’aba akyassa gezaako okulaba ng’omukwata omutwe mu kifo kimu naye ng’assa.
Bw’oba olina tawulo oba amasuuka, gazinge ogateeke buli ludda lw’omutwe okusobola okukuumira omutwe mu kifo ekimu.
Amasuuka bwe gabula funa amapaapaali oba ekintu ekikaluba omuteeke mu mabbali g’omutwe kuba buli lwe gwenyeenya guba gulina kye gwonoona.
Togezaako okusitulawo muntu oyo okuggyako nga waliwo obulabe obulala obugenda okumusangawo ng’ekizimbe ekiyiika, omuliro oba emmotoka.
Bwe muba baakumukyusa mumutambuze, funa olubaawo olwegolodde obulungi mulumuteekeyo wansi naye nga temusoose kumusitula okuggyako okutambuza olubaawo olwo.
No Comment