Obujjanjabi ku butuuliro obukusiiwa
Mar 25, 2024
MU butuuliro awafulumira obubi, kifo ekyetaaga okukwata n’obwegendereza olw’omulimu omukulu gwe kikola.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Musasi waffe
MU butuuliro awafulumira obubi, kifo ekyetaaga okukwata n’obwegendereza olw’omulimu omukulu gwe kikola.
Wabula ebiseera ebimu, osobola okwesanga ng’ofunye okusiiyibwa mu kifo awafulumira obubi olw’ebizibu ebiva ku buyonjo, endya, n’endwadde.
Omukutu gwa https://my.clevelandclinic.org gulaga nti ebintu bingi ebireetera okusiiyibwa mu kifo awafulumira obubi, nga muno mulimu emmere naddala esiikiddwa ennyo ne butto, kaawa alimu ekirungo kya caffeine ekiwerako, omwenge, n’ebyokunywa ebirimu sukaali omungi.
Endwadde omuli okuddukana, emisuwa gy’obutuuliro okuzimba, endwadde ezitambuzibwa okuyita mu kwegatta, enjoka, n’endala nazo zireetera obutuuliro okukusiiwa.
l Bw’ofuna ekizibu kino, fuba okulaba nga weeyonja bulungi mu kifo awakusiiwa oluvannyuma lw’okufulumya obubi, ng’okozesa amazzi amayonjo, n’okwesiimuula obulungi ne wakala naye nga tokozesa maanyi.
l Singa okozesa amaanyi, osobola okuleetera emisuwa egiri mu kifo ekyo okwongera okuzimba olussi n’okwabika, n’oyongera okufuna obulumi n’endwadde endala.
l Yambala akagoye akasooka ku mubiri nga kaakolebwa mu ppamba, kakuyambe okukuuma obutuuliro nga bukalu. Olugoye lwa ppamba lukuyamba okunuuna entuuyo n’amazzi agayinza okuva mu bitundu ebyo.
l Weewale okulya emmere ensiike ennyo, kaawa ajjudde ekirungo kya caffeine, n’omwenge.
l Lya ebintu ebiyamba okugonza olubuto okugeza emboga, enva endiirwa, ebibala ng’amenvu bikuyambe okufuluma obulungi nga teweekaka.
Wabula singa okusiiyibwa kuvaamu omusaayi, oba amasira, oba ne kutwala ekiseera ekiwera nga tekuvaawo, dduka mu ddwaaliro okeberebwe, basobole okukuwa eddagala
No Comment