Enkozesa ya woyiro eneewangaaza yingini
Nov 21, 2023
EMMOTOKA yonna okugikuuma nga nnamu bulungi erina okubeera ng' ekolebwa ssaaviisi mu bbanga erikuweereddwa.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Musasi Wa Bukedde
EMMOTOKA yonna okugikuuma nga nnamu bulungi erina okubeera ng' ekolebwa ssaaviisi mu bbanga erikuweereddwa.
James Ssegawa nga makanika wa mmotoka ku M.A Spare Parts & Garage e Luzira agamba nti, mu kukola ssaaviisi waliwo ebintu ebirina okuteekebwako essira nga woyiro w’ekidduka.
Okukyusa woyiro, okukebera ku ‘Break pads/ pads/ Break shoes, break fluids, spark plugs, amazzi g’emmotoka, emipiira n’ebirala.
Waliwo ebika bya woyiro eby’enjawulo nga bikozesebwa mu ngeri ya njawulo, okugeza waliwo ekika kya SAE 40 ekyusibwa oluvannyuma lwa kiromita 3,000.
Ekika ekirala kya 20 W 50 ng’akyusibwa oluvannyuma lwa kiromita 5,000 ne 15W 20 akyuusibwa ku kkiromita 10,000.
Waliwo ne woyiro wa Gear box mu mmotoka ya Automatic model 2005 n’okukka wansi. Kyokka model 2007 n’okudda waggulu ku mpya nazo zikozesa mulala.
Kale singa ogenda ku masundiro g’amafuta bakuluhhamya bulungi ku woyiro ow'enjawulo na kyanaakuyamba.
Woyiro omutuufu kirungi omugule mu bifo ebituufu, si kirungi kuteeka woyiro mukadde mu mmotoka yo.
No Comment