SSENKULU w’ekitongole kya Paapa eky’eby’enjigiriza ebya Ssayansi ng’atuula mu Vaticano, Kalidinaali Peter Kodwo Appia Turkson anenyezza abantu abawakanya okubaawo kwa Katonda ky’okka nga buli lunaku basiiba balaba n’okukozesa ebintu byeyatonda.
Kalidinaali Turkson ng'asoma mmisa
“Okutondebwa kw’ensi ssikintu eky’olugero. Ebitonde byonna Katonda y’abissaaawo tube ngatubyeyambisa okubeera mubulamu obulungi era obujjuvu. Katonda ayagala ebitonde tubeere wamu nabyo era tubikozese n’obuvunaanyizibwa. Kino kituwa obuvunaanyizibwa okukuuma obutonde bw’ensi. Bwetukwata obutonde bw’ensi n’obuvunaanyizibwa, ggwe wamma Omukama n’affe talema kutulabirira. Omukkiriza yenna y’andibadde tayonoona butonde bwansi.kubanga mubitonde tulabiramu obwa Kataonda eyatonda ebitonde,” Kalidinaali Turkson bweyategeezezza.
Y’abadde ayigiriza mu mmisa gyeyayimbidde mu Klezia y’ekigo ky’e Nandere, mu disitulikiti y’e Luweero, ku Lwokutaano nga July 25, 2025. Mu mmisa eno, Kalidinaali Turkson yatongozza abavubuka 18 abaamalirizza kkoosi munkolagana, okubeerangana, n’okukwatagana kwabantu n’obutonde bwensi, gyebabadde basomera muttendekero lya Bathany Land Institute e Nandere, okumala emyaka 2.
Kalidinaali Turkson yakubirizza abaasibuddwa okuddayo mu byalob gyebazaalibwa, bayigirize abanto enkozesa y’obulungi bw’ensi ennungi, era babayambe okwekulaakulanya.
Omukolo gwetabiddwako ne Ssabasumba wa kampala, Paulo Ssemogerere, Omwepiskoopi w’e Kasana=Luweero Lawrence Mukasa, Pulezidenti wa Bethany Land Institute Fr Prof. Emmanuel Katongole, akulira ettendekero lino Fr Joseph Kakooza Nnyanzi, Bwanamukulu w’e Nandere Fr Mathias Jooga, n’Abasaserdooti abalala