Lwaki omuserikale asaanye yeekebejje emmotoka yo ng'efunye akabenje

Mar 18, 2025

MMOTOKA okugwa ku kabenje kya bulijjo. Wabula mubaamu obw'amaanyi n’obutonotono naye nga bwonna buyinza okuzingiramu okwonooneka kw’ebidduka, okulumya oba okutta abantu.

NewVision Reporter
@NewVision

MMOTOKA okugwa ku kabenje kya bulijjo. Wabula mubaamu obw'amaanyi n’obutonotono naye nga bwonna buyinza okuzingiramu okwonooneka kw’ebidduka, okulumya oba okutta abantu.

Akabenje konna kalina okutegeezebwa poliisi y’ebidduka okuzuula obuzibu webuvudde n’okumanya ani abadde mu nsobi singa kazingiramu ebidduka eby’enjawulo.

Emmanuel Aleti owa poliisi eyeekebejja ebidduka n’okugezesa abagenda okufuna pamiti z’okuvuga ebidduka e Naguru eya Inspector of Motor Vehicles (IOV) agamba obulabe bw’okwewala okw’ekebejja ekidduka ekigudde ku kabenje obumanya luvannyuma ne bwe giba emyaka 10 mu maaso.

Kino kizingiramu baddereeva oba bannanyini bidduka okutegeeragana bokka nga tewali wa poliisi oluvannyuma lw’akabenje.

Oluusi oluuyi olumu lulemererwa okutuukiriza ebiba bikkaanyiziddwa naddala ssente z’okuddaabiriza emmotoka ate nga poliisi tekyasobola kufuna bujulizi okuva mu kifo akabenje we kaagwa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});