Kozesa eddagala ly'obutonde mu kufuuyira ogaziye akatale ko

Mar 31, 2025

“ENSANGI zino omulimi yenna okusobola okufuna amakungula amalungi, talina kwewala kufuuyira. Kino kivudde ku mbeera nti, obuwuka obutawaanya ebirime wamu n’endwadde ez’enjawulo byeyongedde, ng’okusobola okubirwanyisa olina okwettanira okufuuyira.

NewVision Reporter
@NewVision

“ENSANGI zino omulimi yenna okusobola okufuna amakungula amalungi, talina kwewala kufuuyira. Kino kivudde ku mbeera nti, obuwuka obutawaanya ebirime wamu n’endwadde ez’enjawulo byeyongedde, ng’okusobola okubirwanyisa olina okwettanira okufuuyira.

Kyokka ng’okola kino, olina okukakasa ng’eddagala ly’okozesa terigenda kusaanyaawo bulamu bwo wamu n’obutonde bw’ensi”.

Bino byogeddwa Florence Namulindwa Ddumba, okuva mu kitongole kya Kulika Uganda ekisangibwa e Gobero ku luguudo lw’e Hoima, abakugu era abanoonyereza ku nnima y’obutonde.

Namulindwa Ng'ateeka Ekikondo Ku Lusuku Lwe Lw'afuuyira N'eddagala Ly'akola Mu Butonde.

Namulindwa Ng'ateeka Ekikondo Ku Lusuku Lwe Lw'afuuyira N'eddagala Ly'akola Mu Butonde.

Mu kaweefube w’okukakasa nga Bannayuganda bakozesa eddagala ly’obutonde mu kufuuyira mu nnimirio zaabwe, aba Kulika Uganda nga bali wamu n’aba Advocacy Coalition for Sustainable Agriculture (ACSA) bakoze eddagala erimanyiddwa nga ‘Kulika Natural Pesticide’ eritalina bulabe ku muntu ate nga litta n’okugoba obuwuka obw’obulabe eri ebirime by’abantu.

Florence Ddumba agamba nti: Abalimi abali mu ggwanga abasinga emmere gye tulima ate naffe gye tulyako. Kyokka mu mawanga agamu, osobola okusanga omulimi ng’emmere alima ya kutunda yokka nga ye gy’alya agigula walala.

Kino kiva ku mbeera nga naye akimanyi nti, akozesa eddagala eritali ddungi eri obulamu bwe olwo n’alyoka agula eyo eyalimibwa mu nnima y’obutonde nga ye kwe yateeka eddagala ery’obulabe eri emmere wamu n’obulamu bw’abantu abalala atunda ntunde.

Awo nno ggwe omulimi ali eyo, wandibadde olima ng’okimanyi nti, emmere gy’olina naawe ogenda kugirya bw’otyo n’ogiteekako eddagala lye weekakasa nti, ddala lya butonde eritagenda kukosa bulamu bwo.

 

Eddagala lino erya ‘Kulika Natural Pesticide’ likoleddwa nga liva mu bimera ebyaffe ebya wano era nga tukozesezza amagezi ag’ekikugu nga tulivumbula, era ligezeseddwa ekimala ku mitendera egy’enjawulo ne tukakasa nga likolera ddala bulungi era nga n’abakugu bakakasiza kino.

Mu ngeri y’emu eddagala lino likola ku birime byonna omuli ebya sizoni n’ebyo ebiwangaazi.

Terikoma okwo likola nnyo ne ku biwuka ebirumba ebibala gamba ng’emiyembe, amapeera, ebitaffeeri n’ebirala.

Ssinga oba olina ebibala ebifaanana bwebityo olina okubifuuyirako eddagala lino bisobole okusigala nga bya butonde ate nga n’obuwuka obugobye.

Olw’obukugu bwe tukozesezza nga tukola eddagala lino, lirina obusobozi okutta ebiwuka byonna omuli ebyo eby’eddiba eriweweera gamba ng’obusaanyi obw’enjawulo okugeza obulumba lumonde ate n’ebyo eby’eddiba eggumu gamba ng’ebiddugavu ebirya ebitooke n’ebirala ebigwa mu kkowe eryo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});