Poliisi ekutte abattakisi babiri abagambibwa okubbira abasaabaze ku nguudo z’omu Kampala ez’enjawulo ssaako okusaasaanya ebicupuli.

Hassan Jjuuko Ku (kkono) Ne Hassan Miir Lead
Hassan Jjuuko 35, omutuuze w’e Kazo ne Hassan Miiro 25, baakwatiddwa poliisi y’e Wandegeya ku bigambibwa nti baludde nga babbira mu ttakisi saako okugabira abasaabaze ebicupuli bya ssente ku nguudo z’omu Kampala ez’enjawulo.
Bano baabakwatidde mu kibuga era omusango guli ku ffayiro CRB 1080/2023. Abakwate baategeezezza nti bavugira ku luguudo lwa Luzira Lugoloobi mu ttakisi nnamba UAT 250Z.
Wabula, ebiboogerwako baagambye tebabimanyi kuba ebicupuli tebabirabangako n'okubimanya tebabimanyi mbu era babawaayiriza.