"Okuzikiza mmotoka mu kalippagano kyonoona amafuta g'emmotoka"

Jan 02, 2024

Ensobi 5 z’okola ne zivaako mmotoka okwonoona amafuta

NewVision Reporter
@NewVision

Ebiseera bino bbeeyi y’amafuta eri waggulu ku masundiro gonna bw’ogeraageranya n’ebiseera eby’emabega.

Embeera eno yeeyongera okukanga abakozesa ebidduka nga kati ababivuga omuli ab’emmotoka ne pikipiki bakaluubirizibwa obulamu.

Mu mbeera eriwo bw’ogattako envuga embi ate nayo ebaleetera okwonoona amafuta, weekanga omuvuzi akolerera kidduka kyokka olwa ssente z’agulamu amafuta.

Omukugu Mu Kukanika Emmotoka Ng’asomesa Abayizi Engeri Amafuta Gye Gatambulamu Mu Mmotoka.

Omukugu Mu Kukanika Emmotoka Ng’asomesa Abayizi Engeri Amafuta Gye Gatambulamu Mu Mmotoka.

Omuvuzi w’emmotoka waliwo ebintu by’asobola okukola n’asobola okukekkereza ku mafuta we yaalibadde asaasaanya ssente ennyingi ate ne zimuyambako okukola ebirala singa ebintu ebimu abeera abyewaze.

Peter Sserugo, akulira eby’okukanika mmotoka ku H&H Motor Garage e Bbunga annyonnyola ezimu ku nsobi abavuzi b’ebidduka ze bakola ne zivaako emmotoka okunywa ennyo amafuta wamu n’engeri y’okubyewala era agamba nti:

1 Okunywa amafuta amatono (obwendo): Kino kireetera emmotoka okukozesa amafuta amangi wabula nga omuvuzi alowooza akekkereza. Buli lw’onywa amafuta amatono gaggwaamu mangu ate  ’okwonoona emmotoka, gano amafuta amatono mu ttanka gabeera gagisuukunda ng’ate buli lwe geesunda gabeera gafuumuuka ekigaleetera okukendeera.

Mu ngeri yeemu amafuta buli lwe gabeera amatono, ppampu ebeera ekozesa amaanyi mangi okukuba amafuta okukkakkana ng’ebyuma ebiyambako mu kwokya amafuta byonoonese.

Ekirala eky’obulabe ekiri ku kunywa amafuta amatono, ku ssundiro oleka ofiiriddwa nga buli lw’oteeka amafuta amatono mu mmotoka waliwo amatondo agasigala mu kiwujjo ky’essundiro ly’amafuta.

Emmotoka bw’ogiteekamu ekisumuluzo totandikirawo kuvuga, ekimu ku bivaako emmotoka okukunywa ennyo, kwe kutandika yingini ate n’osimbulirawo. Kino kireetera emmotoka okutandika okutambula ng’ebyuma tebinnabuguma olwo ne bikozesa amaanyi mangi okubuguma ng’etambula ekivaako okuwuuta amafuta.

Okwewala kino, emmotoka giteekemu ekisumuluzo emale eddakiika nga 15 ng’etokota awo oluvannyuma osimbule. Wano tejja kuwuuta mafuta mangi. Bw’obeera ogenda ku lugendo wandibadde olindako eddakiika entono bw’etokota n’oluvannyuma n’osimbula.

Okuzikiza Mmotoka Yo Mu Kalippagano K'ebidduka Kyonoonera Ddala Amafuta.

Okuzikiza Mmotoka Yo Mu Kalippagano K'ebidduka Kyonoonera Ddala Amafuta.

2 Okuzikiza emmotoka mu kalippagano oba ku bitaala oba oyonoona mafuta: Waliwo abavuzi abamu nga bwe batuuka mu kalippagano k’ebidduka oba ku bitaala ate bazikiza emmotoka nga balowooza nti, bakekkereza. Kino abakikola balina okumanya nti, ate buli lwe baddamu okussaako yingini bakozesa amafuta mangi nnyo.

Emmotoka bw’eba etandika ebeera ku 1:1 (ekitundu ekimu mafuta ekirala mpewo). Wabula buli mmotoka lw’egenda etambula amafuta gakendeera olwo ng’empewo gy’esinga okukozesa. Emmotoka ezimu zituuka ne ku 1:14 (ng’amafuta gali ku 1 ate ng’empewo eri ku 14). Wano emmotoka eba enywa kitono nnyo wabula bw’ogizikiza eddayo ku 1:1 n’eddamu n’egawuuta ng’etandika.

3. Bw’olinnya ennyo omuliro ng’osimbula emmotoka ewuuta: Kino kiri nnyo mu mmotoka eza ggiya ng’olinnya kkulaaki ate n’olinnya ennyo n’omuliro. Kino kikyamu era buli lw’okikola manya nti amafuta gagenda kuyiika mu yingini nga mangi.

4. Emmotoka gitwale ku saaviisi buli kiseera kyayo lwe kituuka: Waliwo abantu abavuga emmotoka nga n’ekiseera kya saaviisi bwe kituuka tebazitwalayo bo ne bongera kuvuga. Mu mbeera eno ojja kwesanga nga sisitiimu y’amafuta yafunamu obuzibu nga tomanyi.

Wabawo embeera ng’amafuta tunywedde macaafu olwo n’akatimba ne kazibikira. Bw’ototwala mmotoka ku ssaaviisi kino tokimanya, oluusi n’okanya kulinnya mmotoka nga tegenda.

Emmotoka gitwale ku ssaaviisi ate makanika omuleke akole omulimu gwennyini ogwetaagisa era bwe wabaawo ekimu ku byuma by’amafuta ng’obudde bwakyo butuuse okukyusibwa kkiriza kikyusibwe.

5.Okugula emmotoka eziriko kikulu: Emmotoka empya ezifuluma ensangi zino buli lwe zidduka ziva ku mafuta ne zidda ku masannyalaze.

Kino kitegeeza nti, amafuta ne bwe gataba mangi nnyo mu mmotoka gasobola okukutuusa gy’olaga. Ekisoomooza ku mmotoka zino kiri nti, oluusi bw’ekucankalanako ng’oli mu bitundu by’omu byalo oyinza okujulira makanika okuva mu kibuga kubanga ezimu zituuka nga zeetaaga na kompyuta okumanya ekizibu kwe kivudde.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});